Omuwala ow'emyaka 16, attiddwa mu bukambwe , omulambo gwe ne baguleka mu loogi e Luweero.
Ettemu lino , lyabadde mu Guest house and bar mu zooni ya Kizito mu kabuga k'e Luweero eggulo ku Lwomukaaga.
Omuwala attiddwa ye Shirati Fatuma Nakijwe 16 ng'abadde muyizi ku ssomero lya Midland High School e Luweero.
Kigambibwa nti omuwala azaalibwa Margret Nankya era nga Nankya, babadde baagalana n'omusajja Christopher Ssesanga (gwe balumiriza okutta) era nga babeera wamu nga n'omugenzi naye bali naye.
Kigambibwa nti gye buvuddeko, baafunamu obutakkaanya ne baawukana era Nankya n'aleka nga muwala we Nakijwe y'addukanya ebbaala.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Tweanmazima, agambye nti , Ssesanga aludde nga yeewerera okutuusa obulabe ku Nankya nti bwe yagenze mu bbaala n'atamusangayo , kwe kutta omuwala n'abulawo era nga bamuyigga.