BANNAYUGANDA bana (3) bawera kufaafaagana na mawanga amalala mu mmotoka z’empaka eziggulawo kalenda ya Afrika (ARC) omwaka guno ez’okubeera mu kibuga Naivasha ekya Kenya wakati wa March 12-15.
Bano bakulembeddwa kyampiyoni w’engule y’eggwanga 2021 Duncan Mubiru amanyiddwa nga Kikankane mu Subaru Impreza WRX Sti, Oscar Ntambi (Mitshubish Evo X) ne Timothy Gawaya (Seat Ibiza).

Kikankane
Kiddiridde abategesi b’empaka zino ezimanyiddwa ng’eza ‘Safari Rally’ okufulumya olukalala olw’enkomeredde, olwakakasizza abavuzi 46 abatuukirizza ebisaanyizo okwetaba mu mpaka zino eziri ku mutendera gw’ensi yonna, Afrika ate ne ku ngule y’e Kenya.
Ng’oggyeeko Kikankane ne Gawaya abaali bavuzeeko ku mpaka z’engule ya Afrika, Ntambi ye muvuzi bannayuganda gwe batunuulidde ku mulundi gwe ogusooka ate nga yaakagula kapyata w’emmotoka, kiki kyayinza okulagawo.
“Ffe nga ttiimu ‘Forest’ tetugenze kwetabamu ng’abamu bwe bakirowooza mbu empaka nene ku ffe, kituufu nene naye ky’ekiseera omuntu awandiike ku byafaayo mu za Afrika ate tugenda kuvuganya,” Ntambi bwe yaweze.

Ntambi
Ntambi ne Kikankane baakuvuganyiza mu mutendera gwa ARC2 ogwali guwanguddwaako bannayuganda; Yasin Nasser (2021) ne Mike Mukula Junior (2024).
Bannayuganda baakusanga akaseera akazibu nga bavuganya abamu ku bavuzi abasinga okudduka mu Afrika okuli; bannakenya; Karan Patel, Samman Vohra, Carl Tundo, Hamza Anwar n’abalala.