Poliisi e Kyankwanzi ekutte Amiru Katende 27, ku bigambibwa nti yasse Kizibwe we Paul Sebutwa oluvannyuma n'amulya.
Bibadde ku kyalo Ssekamulye mu muluka gw'e Kiwaguzi, mu ggombolola y'e Mulajje e Kyankwanzi.
Amagumba ge baasanze tegaliiko nnyama.
Kigmbibwa nti, Poliisi esobodde okuzuula omutwe, n'ebyenda ebyalekeddwawo, ejjambiya n'essefuliya mwe yafumbidde ennyama.
Kigambibwa nti bamusanze ayoza okumu ku magulu n'adduka era baamukwatidde Kiboga ne bamuzza e Kyankwanzi. Okunoonyereza kugenda mu maaso, ebisingawo, mu mawulire gaffe agaddako.