OMUVUBUKA agambibwa okulabikira mu vidiyo ng'emulaga okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka ne banne abalala, akwatiddwa poliisi y'e Banda.
Solomon Wafula 27, omutuuze mu Banda zzooni 111 e Nakawa mu Kampala, y'akwatiddwa poliisi egenda mu maaso n'okubuuliriza ku katambi mwe yalabikidde ne banne nga bali mu bumenyi bw’amateeka.

Wafula eyakwatiddwa
Poliisi era erabudde abantu okwewala okukola obutambi obusikiriza abantu okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka n'okwewala obwo obulaga okutwalira amateeka mu ngalo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti bayigga n'abalala abaalabikidde mu katambi kano.