Buddo 0 (5) Kitende 0 (4)
ABAWAGIZI b'omupiira abaabadde abangi ku kisaawe kya Ngora High School mu Teso
baasaanuuse eggulo, Buddo SS bwe yawangudde St. Mary's SS Kitende ku fayinolo y'omupiira gw'amasomero g'eggwanga. Amasomero gombi ga mu disitulikiti y'e Wakiso kyokka ekyasinze okubasaanuula, ye Buddo okuwangula Kitende, eyeefuze ennyo empaka zino (yaakaziwangula emirundi 11).
Ekirala, Kitende yaggyeemu Jinja Progressive Academy (JIPRA) ku semi oluvannyuma lw'omupiira gwabwe ku semi okuyiibwa abawagizi, akakiiko akategesi ne kawa Kitende obuwanguzi nga kazudde nti abakungu ba JIPRA beenyigidde mu kukuba baddiifiri
n'okukuma mu bawagizi omuliro ne bayiwa omupiira.
Kino kyaddirira baddiifiri okutta ggoolo ya JIPRA eyandibadde ey'ekyenkanyi mu kitundu ekisooka ng'owaakatambaala yalagab nti mu lukwe lw'okugiteeba waliwo eyasooka okusindika omuzibizi wa Kitende.
Mu fayinolo eyazannyiddwa eggulo ku Ngora High School, baalemaganye (0-0) mu ddakiika 80 ne bagenda mu 'bunnya', Buddo n'enywesaako 5 ku 4. Buddo
yawezezza ebikopo 3 ate Kitende esibaganye ne Kibuli ku 11. Minisita w'Ebyemizannyo, Peter Ogwang ye yakwasizza Buddo ekikopo wakati mu nduulu.
Empaka ziyindidde ennaku 10. Kitende yakuba Buddo (2-0) ku fayinolo ya Wakiso Zooni.
Comments
No Comment