Omusibe afiiridde mu kkomera n'aleeta ensasagge

Omusibe okuva mu kkomera ly’e Mutufu mu disitulikiti y’e Sironko afiiridde mu kulima bwe babadde babatutte e Bunambutye ku lubimbi.

Omusibe afiiridde mu kkomera n'aleeta ensasagge
NewVision Reporter
@NewVision
#Musibe #Kulima #Sironko

Omusibe okuva mu kkomera ly’e Mutufu mu disitulikiti y’e Sironko afiiridde mu kulima bwe babadde babatutte e Bunambutye ku lubimbi.

Omwogezi wa poliisi mu Elgon, SP Rogers Tayitika yagambye nti poliisi enoonyereza okuzuula engeri Wolimbwa Alex Magolo, 22, gye yafudde nga babatutte okulima e Kata Bunambutye.

Bano abaabadde abasibe 60, baawerekeddwaako omuserikale Edward Orionzi.  Bwe baabadde balima, ku ssaawa nga 2:00 ku makya ku Lwokusatu, baalabidde awo nga Wolimbwa atondoka n’agwa eri n’atandika okubimba ejjovu.

Baamuyoddeyodde okumuddusa ku ddwaaliro e Muyembe kyokka yafiiridde mu kkubo kuba baabadde bali ku bigere.