PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne minisita avunaanyizibwa ku Ssemateeka, Nobert Mao baggyeeyo empapula z’okwesimbawo ku Bwapulezidenti.
Ku kakiiko k’ebyokulonda, Kyagulanyi yakiikiriddwa bakulembeze banne mu NUP okwabadde Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti era omwogezi w’ekibiina, Joel Ssennyonyi, abamyuka bapulezidenti okuli ow’omu bukiika kkono, Dr. Lina Zedriga n’ow’omu bugwanjula Jackline Jolly Kamugisha n’abakulembeze abalala okwabadde n’ababaka ba Palamenti.
Ate Nobert Mao nga y’agenda okukwatira DP bendera, empapula ze zaggyiddwaayo Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Gerald Blacks Siranda era nga bonna zaabakwasiddwa
kamisona w’akakiiko k’ebyokulonda Samuel Kiyingi.
Nga baakwasibwa empapula, Ssennyonyi yategeezeza nti kati basimbudde era bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga bawenja obuwagizi bw’ekibiina n’alabula abeebyokwerinda obutabeekiikamu okubalemesa.
AKALULU KOKKA TEKASOBOLA KUKYUSA GGWANGA
Ng’amaze okuweebwa empapula, Siranda yasanze akaseera akazibu okukakasa bannamawulire nti omuntu asobola okubeera minisita mu Gavumenti ya Pulezidenti Museveni ate n’amuvuganya okumusuuza entebe.
Yayambalidde abakibateekako nti DP baagitunda mu NRMn’asaba ababassa ku nninga nti ekibiina baakitunda bamuleetere lisiiti.
Kyokka yagambye nti wadde akalulu kano bakagendamu, naye tekasobola kuggya Pulezidenti Museveni mu buyinza, wabula n’asaba Bannayuganda kukakozesa ng’omukisa ogw’okwongera okwogerezeganya ne Museveni balabe engeri gy’asobola okuva mu buyinza mu ddembe.
ABEEWANDIISIZZA BASUSSE MU 175 Omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda, Julius Mucunguzi yagambye nti essaawa we zaaweredde 7:00 ez’omu ttuntu eggulo, abantu 175 be baabadde baakatwala empapula z’okwesimbawo ku Bwapulezidenti.
Mu bano, mwabaddemu ebibiina by’ebyobufuzi 8 ng’abasigadde baagala kwesimbawo ku bwannamunigina.