Omusajja agambibwa okutulugunya mukyala we buli ssaawa gamumyukidde mu kkooti

OMUSAJJA agambibwa okutuntuzanga mukyala we buli olukedde gamumyuse, kkooti egobye okweyimirirwa kwe kw’ataddemu n’alagirwa agira agendako mu kkomera nga bw’akyusa mu nneeyisa ye.

Fahad Ssekanja ng'ali mu kaguli ka Kkooti
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

OMUSAJJA agambibwa okutuntuzanga mukyala we buli olukedde gamumyuse, kkooti egobye okweyimirirwa kwe kw’ataddemu n’alagirwa agira agendako mu kkomera nga bw’akyusa mu nneeyisa ye.

Fahad Ssekanja 34, omutuuze w’e Busega mu munisipaali y’e Lubaga y’agasimbaganye n’omulamuzi Amon Mugezi owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo n’amusomera omusango gw’okukuba mukazi we gw’amaze naye emyaka munaana era oluvannyuma amusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga March 15, 2023 gutandike okuwulirwa.

Kigambibwa nti, nga January 1, 2023 e Busega Ssekanja yakuba Sumayah Zalwango ng’ono mukaziwe n’amutusaako obuvune obw’amanyi ku mutwe.

Zalwango ategeezezza kkooti nti guno si gwe mulundi ogusoose omusajja ono okumukuba ate nga n’omwana gw’amulinamu kimukaluubiriza okumuwa obuyambi. Agamba nti omulundi ogwasooka okumukuba yamuviira mu maka n’agenda ewaabwe wabula nga kati gye yamulumbye n’amukuba.

Ssekanja yeewakanye eky’okukuba omukyala n’ategeeza nti kirabika omukazi alina ebirala by’ayagala naye eky’okumukuba tasobola ku kikola.

Oludda oluwaabi lw’asabye kkooti eteeketeeke olunaku lw’okutandika okuwulirizaako omusango guno kubanga obujulizi bwonna bwawedde okukunganyizibwa.

Yasabye kkooti okumuyimbula ku kakalu kayo wabula omulamuzi Mugezi yakigaanyi n’amutegeeza nti k’asooke amusindikeko mu kkomera nga bw’alowooza ku ky’okukyusa empisa kubanga ebikolwa by’obutabanguko mu maka bisusse nnyo ensangi zino