MINISITULE y’ebyensimbi ewadde akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 11 n’obukadde 200 ezigenda okugabanyizibwa mu bibiina by’ebyobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti abakkiriza okukolera mu mukago gwa IPOD.
Mu ntegeka eno, ekibiina kya NUP ekisinza ababaka (48) ku biri ku ludda oluvuganya, tekigenda kufuna ku ssente zino olw’okuba kisangiddwa tekinnakkirizibwa mu butongole okwegatta ku mukago.
Ensonda mu minisitule y’ebyensimbi zaategeezezza nti ssente zaamaze okuweerezebwa ku akawunti z’akakiiko k’ebyokulonda eza ‘kwota’ eyookubiri (October-December). Ebibiina by’ebyobufuzi birina okuweebwa obuwumbi 45 mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwatandika mu July wa 2026.
Ssente ziweerezebwa mu bitundu bya mirundi ena buli luvannyuma lwa myezi esatu. Omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Baabo Kamugisha yakakasizza nga bwe baafunye ssente era nga bagenda kuziweereza ku akawunti z’ebibiina ebiri mu mukago gwa IPOD.
Kamugisha yagambye nti ssente bagenda kuzigabanya mu bibiina okusinziira ku bungi bw’ababaka be balina ng’ekisinza abangi era kye kijja okufuna omutemwa ogusinga. Uganda erimu ebibiina 27 ebyewandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda era ne bikkirizibwa okukola. Wabula ebirina ababaka mu Palamenti biri musanvu byokka okuli; NRM erina ababaka 372, NUP-48, FDC-9, DP-6, UPC-12, PFF-2 ne ANT balina 1.
LWAKI NUP TEGENDA KUFUNA SSENTE?
Wadde nga NUP ne ANT birina ababaka kyokka tebayingizibwanga mu butongole mu mukago gwa IPOD. Palamenti yayisa etteeka mu March wa 2025 erigaana ebibiina ebiteenyigira mu mirimu gya IPOD okuddamu okufuna ssente.
Ebbago ly’etteeka lyayanjulwa omubaka Faith Nakut (mukazi/Napak) era oluvannyuma Pulezidenti n’aliteekako omukono. Mu June wa 2025, NUP yawawaabira ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti, n’akakiiko k’ebyokulonda ng’ewakanya obutaweebwa ssente z’ebibiina ebikiikirirwa mu Palamenti n’esaba ekiragiro kiyimirizibwe.
NUP ne ANT oluvannyuma baateekayo okusaba mu IPOD mu butongole nga baagala okugyegattako. Mu kiseera kino kigambibwa nti NUP bali mu bwetaavu bwa ssente olw’ababaka abamu okugaana okusasula ssente za buli mwezi.
Embeera y’ebbula lya ssente yaviirako ofiisi z’ekibiina nnyingi eziri mu disitulikiti ez’enjawulo okuggalwa olw’obutabaawo ssente ziziddukanya.
NUP ERAZE KY’EZZAAKO
Omukulembeze ku lukiiko lwa NUP olw’oku ntikko eyasabye amannya gasirikirwe yagambye nti bagumu nti ssente zaabwe bajja kuzifuna ekiseera kyonna.
Yagambye nti gye buvuddeko baalina olukiiko n’abakulu b’akakiiko k’ebyokulonda ne babategeeza nti omutemwa gwabwe tebagenda kugugabira kibiina kyonna. Bagenda kusigala ne ssente zino, ng’ekiseera bwe kinaatuuka ne bakkirizibwa okuyingizibwa mu mukago olwo nga balyoka bazibawa.
Kyokka yalaze okutya nti singa omwaka gw’ebyensimbi guno guggwaako nga tebazifunye, zibeera ziddayo mu ggwanika lya Gavumenti ng’okuddamu okuziggyayo kiyinza okuba ekizibu.
Yategeezezza nti wadde nga baateekayo omusango mu kkooti ku nsonga y’emu eno omwaka oguwedde, ku mulundi guno ensonga bagenda kuzikwata mu ngeri ya byabufuzi nga bayita mu kwogerezeganya. Ssenkaggale wa DP, Nobert Mao era nga ye minisita wa ssemateeka yawadde essuubi ebibiina by’ebyobufuzi ebitannayingira mukago gwa IPOD nti baakusindikira abakulembeze b’ebibiina abataliiwo basseeko emikono basobole okuyingira.
SI GWE MULUNDI OGUSOOSE NUP OBUTAFUNA SSENTE
Mu August wa 2025, minisitule y’ebyensimbi yawa akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 11 ez’okugabanya ebibiina byebyobufuzi ebiri mu IPOD.