OMUSAJJA abadde asima n'okuzimba oluzzi , amatofaali gamugwiridde n'afiira mu kinnya e Bugiri.
Bibadde ku kyalo Ndifakulya mu Ggombolola y'e Kapyanga e Bugiri, omusajja Ramathan Mutengevu 30 , bw'afudde ng'atuuse mu buwanvu bwa fuuti nga 50 wansi, amatofaali ne gamogoka ne gamugwira.
Abazinyamooto okuva e Iganga, batuuse mu kifo ekyo , kyokka bagenze okumunnyulula , ng'amaze okufa era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Bugiri, okugwekeneenya era n'asaba abantu ku mirimu nga gino, okubeera abagendereza.