Akulira abasawo b’ekinnansi, Slyvia Namutebi amanyiddwa nga Maama Phinah alaamidde Paasita Bujingo ne Paasita Bugembe okumusabira nga afudde.

Paasita Bugingo nga yaakamala okusabira maama Fiina.
Bino abyogeredde ku mukolo gw’okuziika Kato Lubwama e Nkozi n’akkukkulumira bannaddiini y’Obukatoliki okugaana okumusabira n’ategeeza nti obusamize tebubaggyaako kubeera na ddiini zaabwe kubanga baabatizibwa.
“Omuntu okumanya obuwangwa bwo tekikugaana kumanya Katonda era nange nkeera kumusaba era kankolere wano ekiraamo kyange. Bwe ndiba nfudde Paasita BuGingo gwe ogenda okunsabira bw’olibeera busy nNyo Paasita Bugembe ansabire, ekiraamo nkimaze,” bw’atyo Maama Phinah bwE yategeezezza.