Omumyuka wa Pulezidenti atenderezza kkwaya ya Yesu Kabaka

Omumyuka wa Pulezidenti, Jessica Alupo asiimye kkwaya ya Yezu Kabaka (Christ the King Church Choir Kampala) olw’okulangirira amawulire agasanyusa ag’Evanjiri ngabayita mu kuyimba

Kkwaya ya Yesu Kabaka nga bayimba ennyimba za Xmas
NewVision Reporter
@NewVision

Omumyuka wa Pulezidenti, Jessica Alupo asiimye kkwaya ya Yezu Kabaka (Christ the King Church Choir Kampala) olw’okulangirira amawulire agasanyusa ag’Evanjiri ngabayita mu kuyimba. Y’asiimye nnyo ne Klezia Katolika olw’okukulaakulanya eggwanga ng’etuusa kubantu eby’enjigiriza, eby’obulamu, n’enkulaakulana. Klezia era y’agyisiimye olw’okutakabanira emirembe n’obumu bwa Bannauganda.

Obubaka bwa Vice-President obw’okwebaza bw’aleeteddwa Hon Justine Kasule Lumumba, ey’amukiikiridde mu kivvulu ky’ennyimba z’Amazaliibwa eky’ategekeddwa Kkwaya ya Yezu Kabaka, mu Kleza ya Yezu Kabaka mu Kampala ku Ssande nga December 22, 2024. Lumumba era y’ayanjudde, era n’awaayo obukadde bw’ensimbi za Uganda 10, Omumyuka wa Pulezidenti Alupo zeyatonedde Kkwaya ya Yezu Kabaka. Lumumba naye kkwaya yagyitonedde obukadde bw’ensimbio za Uganda 2.

Mwami Felix Nsimomwe ey’ayogedde lu lwa kkwaya, y’asiimye nnyo Abakristu n’abantu bonna ab’omwoyo omulungi abagiwagira n’okugyiwanirira mubutume bwayo.

Faaza John Muwanga Muganga ng’ono y’avunaanyizibwa kunsonga za kkwaya mu Klezia ya Yezu Kabaka naye yeebazizza Kkwaya ya Yezu Kabaka olw’obuweereza bwayo obw’ettendo

Login to begin your journey to our premium content