Katumba Wamala akunze abasuubuzi nga Uganda Airlines etandise okugenda mu London

ENNYONYI y’eggwanga eya Uganda Airlines etongozza olugendo lw’e Gatwick mu kibuga London ng’omukolo gwabadde ku kisaawe ky’eggwanga ekya EntebbeInternational Airport.

Katumba Wamala akunze abasuubuzi nga Uganda Airlines etandise okugenda mu London
NewVision Reporter
@NewVision

ENNYONYI y’eggwanga eya Uganda Airlines etongozza olugendo lw’e Gatwick mu kibuga London ng’omukolo gwabadde ku kisaawe ky’eggwanga ekya Entebbe
International Airport.
Omukolo gwetabiddwaakom minista w’ebyobusuubuzi, n’amakolero Francis Mwebesa,
omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, Ramathan Goobi, omubaka wa Bungereza mu Uganda, H.E Lisa Chesney ne minisita w’enguundo n’ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala era ono ye yabadde omugenyi omukulu ku
mukolo guno n’abalala. Uganda Airlines yaakugendanga e Bungereza ennaku 4 mu wiiki
okuli ku Ssande, Olwokubiri, Olwokusaatu ne ku Lwokutaano.
Gen. Edward Katumba Wamala yategeezezza nti, guno omukisa munene eri abasuubuzi
okusuubulagana ne Bungereza. Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, Ramathan Goobi yakakasizza nti, gavumenti egenda kwongera okuwagira Uganda Airlines okutalaaga amawanga amalala mu kaweefube w’okutumbula ebyenfuna
by’eggwanga.
Deo Nyanzi, akwasaganya eby’emirimu mu kitongole ekivunaanyizibwa mu kubuusa
ennyonyi ekya Uganda Airlines yalaze ng’emikisa mingi egyetoololedde ku by’okuvuga ennyonyi omuli amatendekero, okuyiga okukanika, okutunda ebyokulya n’amaduuka ag’ebintu eby’enjawulo, abavuga sipeeso n’emirimu emirala.