Amawulire

Omulwadde wa Ebola owookubiri e Mubende afudde

Omusajja omulala abadde ateeberezebwa okuba n’ekirwadde kya Ebola afudde. Afiiridde mu ddwaaliro lya Mubende Regional Referral Hospital. Ono y’omu ku bantu e 14  abaakung’anyizibwa mu ddwaaliro lino nga balina obubonero bwa Ebola.

RDC w’e Mubende, Rosemary Byabashaijja
By: Luke Kagiri, Journalists @New Vision

Okusinziira ku RDC w’e Mubende, Rosemary Byabashaijja, omusajja okuva mu ggombolola y’e Madudu mu Mubende yafudde ku Lwokubiri. RDC y’akulira ekitongole kya Mubende Rapid Response Team, ekikolera awamu ne minisitule y’ebyobulamu nga bagezaako okunoonya abantu bonna abeetaba mu kuziika omuntu eyafudde ku Mmande n’okunoonyereza ku bantu abalala omukaaga abasooka okufa obulwadde obutategeerekeka.

Byabashaijja yategeezezza nti basobodde okuzuula abantu 14 abalina akakwate ku muntu eyafa nga September 19, 2022. Ku bano 10 baali bava mu ggombolola y’e Madudu okuli n’oyo eyafudde ku Lwokubiri nga September 20, 2022. Ate abalala baavudde mu disitulikiti y’e Kyegegwa mu Toro.   

Abasawo abakugu baatutte omulambo gw’omuntu eyasooka okufa ne baguziika ate leero bagenda kuziika  omulala eyafudde eggulo.

RDC yagambye nti baataddewo ekifo we bakung’aanyizza abalwadde ba Ebola ku Mubende Regional Referral Hospital era buli muntu gwe bakebera n’okuteebereza okuba ne Ebola we bamuteeka okufuna obujjanjabi.

Mu kiseera kye kimu akunze abatuuze okwewala ebiyinza okuvaako okusaasaana kwekirwadde kino nga okukwatagana mu ngalo.

Tags: