EBBULA ly’amazzi mu bitundu bya Nakawa eby’enjawulo byongedde okusattiza abatuuze nebawanjagira abakulembeze babwe ne Gavumenti okubaako ky’ekolawo okulaba nga ekizibu kino kinogerwa eddagala.
Bw’otuuka mu bitundu bya Nakawa eby’enjawulo ebbula ly’amazzi likudde ejjembe nga n’ekisingira ddala okuluma abatuuze bano gemazzi okugenda mu ngeri ya kibwatuukira nga babadde tebakisuubira.
Abantu nga basena amazzi
Zowena Nakayemba, omutuuze we Kyanja era nga ye Kansala omukyala atwala ekitundu kino ategezezza nga bwebalina ennaku etagambika eva ku bbula ly’amazzi eryagwawo mu kitundu kyabwe.
Ategezezza nti bali mu bulumi bwamanyi okuva amazzi lwegaagenda ku lw’okutaano lwa Wiiki ewedde nga n’okutuusa kati tegannaba kudda.
Ategezezza nti baasooka nebalowooza nti gagenda kudda kyokka balabira awo nga tegakomawo n’okutuusa kati.
Eky’ennaku abantu tebamanyi ddi amazzi gano lwegagenda kudda nga mu kiseera kino buli omu ayagga. Waliwo abantu abasobola okukima amazzi okuva ku nzizi nebagatunda mu bantu kyokka nga mu kiseera kino ekidomola bakitunda wakati wa 1000/= ne 1500/= nga n’abatuuze abasinga tebasobola kugasasulira.
Asabye abavunanyizibwa ku kubunyisa amazzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusookanga okulanga singa babeera btekateeka okuggyako mazzi gano kisobozese abantu okwetekateeka obulungi.
Lucky Mulochi omutuuze we Kitintale zooni 11 mu Nakawa East ategezezza nti balina okusomoozebwa n’amazzi mu kitundu kyabwe nga amazzi gaytirira okugenda nga bwegadda nga kino kibatataaganya nnyo.
Abantu nga basena amazzi
Ategezezza nti ekitundu kyabwe amazzi gateekwa okubula buli mwezi nga bakosebwa nnyo nga n’ekisinga okubatataganya lwe lugendo oluwanvu enzizi n’ebidumu gyabiri nga eno basangayo n’abantu bangi oluusi nebalemererwa okugafuna olw’abantu abangi.
Mulochi agamba nti mu kiseera kino ekidomola ky’amazzi bwebakibatuusiza ewaka kigulibwa 1000/= nga zino zibeera sente nnyingi bw’ogerageranya eby’enfuna by’abantu.
Kansala akiikirira Mutungo VI, Moses Walusimbi yenyamidde olw’ebbula lyamazzi eribeerawo mu kitundu nga kino kiviirako abatuuze okusena ku midumu n’ebidiba ekiyinza okubaviirako okufuna endwadde eziva ku bucaafu.
Asabye Gavumenti okulwana okulaba nga ekizibu ky’amazzi kino kinogerwa eddagala kubanga buli amazzi lwegabula n’emirimu gy’abantu gyesiba naddala abo bakola mu mirimu egyetaaga amazzi.
Harriet Asimwe akola omulimu gw’okwoza engoye e Kitintale ategezezza nga emirimu gyabwe bwegifa buli amazzi lwegabula nga bawalirizibwa okugakima ku byalo ebibalinanye kyokka nga n’eno bagafunira ku miwendo gya waggulu nga kino kitataaganya emirimu gyabwe.