Omulambo gw'Omuyindi gunnyuluddwa mu Ssezibwa

Omuyindi yattibwa omulambo abatemu ne bagusuula mu mugga Ssezibwa okumpi n’olutindo mu disitulikiti y’e Kayunga.

Abavubi nga bannyulula omulambo gw'Omuyindi..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Omulambo #Omuyindi #gunnyuluddwa #Ssezibwa

Bya Saul Wokulira              

Omuyindi yattibwa omulambo abatemu ne bagusuula mu mugga Ssezibwa okumpi n’olutindo mu disitulikiti y’e Kayunga.

  Abatemu baamufumita ebiso mu bulago, mu mbiriizi ne bitundu ebirala eby’omubiri.

 Abatuuze balaze obweraliikirivu olw’abantu abattibwa mu kitoogo kya Ssezibwa era nga buli wiki wabaawo emirambo eginnyululwa ng' egimu gireetebwa ne gisuulibwa mu mazzi ate olumu wabeerawo ensitaano eziraga nti baatemuliddwa awo.

 Poliisi ng' eyambibwako abavubi bannyuludde omulambo nga gutandise okuvunda era gwalabiddwa nga gutengejjera ku mazzi nga guvaamu ekivundu.

Abantu Nga Bakung'aanye Okulaba Omulambo Gw'omuyindi.

Abantu Nga Bakung'aanye Okulaba Omulambo Gw'omuyindi.

Omulambo teguriiko bigwogeraako era amannya ge tegannategeerekeka.

Abavubi basoose kwecanga ne bagaana okugenda okunyulula omulambo okutuusa ababaddewo lwe basoloozezza ssente ku bantu ababadde bayita mu kkubo, olwo ne bavuga amaato ne bagenda baguleeta.

Kisaalita Majidu omu ku bannyuludde omulambo agambye nti gulina ebiwundu mu bulago nga kirabira nti baamufumise ekiso, ebiwundu ebirala biri mu ngalo, ne ku kugulu.

Abantu basabye poliisi ebeerawo mu budde obw’emisana etandike n’okubeerawo ekiro kikendeeze ku ttemu.

OC wa poliisi y’e Kayunga, Isa Katongole agambye nti abantu omulambo baagulabye ggulolimu wabula ne batya okutegeeza poliisi nga bagamba nti ejja kubakwata.

Kantongole agambye nti batandise okunoonyereza okuzuula abaatemula omuntu oyo.