Omusajja agambibwa okuba omubbi w'ebijambiya ow'olukango, akubiddwa amasasi agamusse munne bwe babadde, ye n'abulawo.
Kino kiddiridde abazigu abeebijambiya, okulumba omutuuze ategeerekese nga Davis okumpi ne Ecomart Supermarket e Kiwaatule mu Kampala kyokka n'asobola okutemya ku poliisi.
Kigambibwa nti omu ku babbi, agezezzaako okulumba abaserikale n'ejjambiya, nti kwe kumukuba amasasi agamusse.
Abadde mu jaketi ya bbulu, mu hood ng'ataddeko masiki enzirugavu era ng'abatuuze bategeezezza nti abadde mubbi wa lulango abadde atigomya abatuuze b'e Kiwatule, Kigoowa n'ebitundu ebiriraanyeewo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago nga bwe bayigga munne bwe babadde mu bunyazi obwo.