Amawulire

Byetulina okwegendereza nga tugenda mu nnaku enkulu

Byetulina okwegendereza nga tugenda mu nnaku enkulu 

Byetulina okwegendereza nga tugenda mu nnaku enkulu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Ebimu ku bintu byetulina okwegendereza naddala nga tubadde tutambula mu biseera nga bino nga tugenda mu nnaku enkulu.

Tulina okwewala obutamala galya bintu bye batuwadde mu takisi, baasi, kosita oba mu ntambula yonna eyolukale. 

Oluusi, ababbi, beeyambisa kalifoomu okumussa mu by'okulya, n'obongoota ne bakunyagako byobeera olina.

Abazadde abalina ebidduka gamba nga pikipiki n'emmotoka, tusaana ebisumuluzo okubikwekwa, kubanga abaana naddala nga kati abamu bwe bali mu luwummula, bayinza okubizuula ne bapakulawo e ekidduka ne bakivuga ne bakola obubenje . 

Ekiseera kino ng'e nnaku enkulu zinaatera okutuuka, abantu batera nnyo okugula ebidduka ate ne babivuga nga tebalina bisaanyizo nga n'enguudo kwe bavugira tebazimanyi, kino nno nakyo kyabulabe nnyo eri obulamu bwammwe n'obwabo abalala, abakozesa enguudo, okusinziira ku poliisi. 

Tags: