OMUKYALA SUPPA ALINA KEYEEKOLEDDE; Gonsha yatandika business y'okutunda eddagala teyejjusa

REHEMA Gonsha, dokita eyatandika ebya bizinensi nga muto ng’akola mu dduuka lya nnyina. Era bwe yamaliriza diguli eya Pharmacy n’atandikawo edduuka eritunda eddagala, kati aweza amatabi 5 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’akozesa abakozi 45.  

Gonsha ku mulimu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

REHEMA Gonsha, dokita eyatandika ebya bizinensi nga muto ng’akola mu dduuka lya nnyina. Era bwe yamaliriza diguli eya Pharmacy n’atandikawo edduuka eritunda eddagala, kati aweza amatabi 5 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’akozesa abakozi 45.
Yava buto n’ekirooto eky’okubeera omusawo nga kyava ku kubeera nti e Busia gye yakulira, tewaali watundibwa ddagala nga bwe balwala, balina kubuuka nsalo okugguka e Kenya okuligula.
Ng’asoma, yakola amasomo ga ssaayansi era mu pulayimale ye yasinga mu disitulikiti y’e Busia.

Gonsha

Gonsha

Eyali mmeeya e Busia gw’ajjukirako erya Mugenyi, yamusaba bazadde be n’amutwala ku Nabumali High School e Mbale era mu S4 ye yasinga mu ssomero eryo ne yeegatta ku Kawempe Muslim SS okusoma S5 ne S6. Oluvannyuma yagenda ku yunivasite e Makerere n’akola Bachelors in Pharmacy.
Ng’asoma obusawo e Makerere yagenda ku ddwaaliro e Mulago nga omuyizi asoma  obusawo agezesebwa era yaddamu okusisinkana mmeeya Mugenyi eyali azze nga omulwadde. “Nasanyuka  kuba ndi kyendi kuba ye era ebisaleby’obujjanjabi, nze nabimusasulira,” Gonsha bw’agamba.
ATANDIKA Ng’akyasoma era nga yeegasse  ku ddwaaliro e Mulago, Gonsha yalondebwa ku bwapulezidenti bw’abayizi abasoma ‘pharmacy’ (President of Intern Pharmacists).

“Nazuula nti abasawo bye babasomesa mu masomero ate si bye  basanga mu malwaliro. Omuwendo gw’abalwadde olumu gusukka era nneewaayo okuwandiika   birina okugobererwa mu kusoma n’entegeka okutendeka. Nneegattibwako n’abalala nga ab’ekibiina kya Pharmaceutical Society of Uganda,” Gonsha bw’agamba.

Waatandikibwawo akakiiko okutunula mu bisoomooza  abasawo abali mu kutendekebwa
n’okubayambako okwongera okutendekebwa. Wabula agamba nti waliwo abaamuyita emabega, n’ava mu pologulaamu eyo.
Yafuna sikaala okugenda mu Amerika okusoma ng’ayambibwako pulofeesa omu
okuva ku yunivasite e Makerere.
Mu 2013, yakomawo okuva mu Amerika, n’atandika Extra Car Pharmacy e Gayaza. Ng’akyasoma e Makerere, yalina ‘Pharmacy’ y’Omuyindi mwe yakolanga naye era ng’asasulwa akasiimo.

Ono yamuwabula obutalowooleza mu by’okumukozesa bw’aliba
amalirizza okusoma. Bwe yajjukira kino, yafuna obuvumu obutandika edduuka lye eritunda eddagala (pharmacy) ng’akozesa ssente z’akasiimo, Omuyindi ze yamusasulanga.
Mu kusooka, Omuyindi yamusuubuzanga eddagala ku bbanja, n’asasula oluvannyuma.
Yazimba bakasitoma mpola mpola era eyatandikira mu muzigo ogumu, n’agattako ogwokubiri.

Gonsha (ku ddyo) ng’ali mu ‘pharmacy’.

Gonsha (ku ddyo) ng’ali mu ‘pharmacy’.


Kyokka muliraanwa we omu, yayagala okweddizaekifo kye era n’amuyita emabega ne bagula ekizimbe. Gonsha, yafuna ekizimbe ekirala kwe yassa  edduuka n’okutuusa kati ettabi ekkulu erya ‘pharmacy’ weriri nga yakola n’amatabi amalala 4,  n’abakozi alina omugatte gwa 45.
EBYAMUYAMBA OKUKULA MU BIZINENSI
l Okwewaayo n’obumalirivu.Agamba nti teyawanika ne bwe waaliwo embeera  emunyigiriza.
l Obwesigwa; Omuyindi yamwesiga okumuwa eddagala ku  bbanja kuba yali mwerufu.
l Okwagala ky’akola ate ng’akirinamu obukugu kyamuyambaokumanya ebizibu
by’abalwadde era n’abawa okuwabulwa okutuufu.
l Okukuuma omutindo nakyo kikulu: Agamba nti afuba okulaba ng’abantu eddagala ly’abawa ttuufu awatali kusooka kutunula ku magoba g’akola.
l Afuba okwongera ku kumanya kwe mu by’akola ne ku nkwata ya bizinensi. Ne bakasitoma abakwata bulungi.

OKUSOOMOOZEBWA
1. Bizinensi ya  bbeeyi era asaasaanya kinene mu kutambuza
eddagala.
2. Oluusi, abantu abalala abatalina bukugu abali mu bizinensi eno, batiisa abalala okugenda m pharmacy’ okufuna obuweereza.
3. Emisolo emingi oluusi egiremesa n’abalala okukola, bizinensi eno.
BY’AFUNYEEMU
l Asobodde okugaziya bizinensi mu matabi ag’enjawulo.
l Alabirira bazadde be ne bato be.
l Yeezimbira amaka ag’ekikyala.
l Ategeka okugulira buli ttabi lya bizinensi ye ettaka lyayo
l Diguli mu Pharmacy
l Diguli eyookubiri mu Pharmaceutical
Care ku Wilkes University, Amerika.
l Dipulooma mu Business
Administration
l Masters in Magement Sciences.
Ebirala by’alimu
1. Ayambako abantu abaagala okutandika bizinensi ng’abawa amagezi ag’ekikugu.
2. Yatandikawo SACCO y’abantu abali mu bizinensi okwetooloola Kampala eya Kampala Central Royal Complex Business SACCO.
BYE WEETAAGA OKUTANDIKA BIZINENSI  Y’OKUTUNDA EDDAGALA
l Okubeera ku yinsuwa.
l Gonsha agamba nti bwe kiba kisoboka,  weewale okutandikira ku looni  okutuusa lw’otegeera bwe batambuzaamu bizinensi eno.
l Kiba kirungi okubeera nga wabisoma okwewala okupangisa abimanyi  ate anaakusaba ssente ennyingi.
l Bw’oba si ggwe agenda okwekoleramu, kakasa anti ofuna obudde  bwa bizinensi yo obumala. l Olina okubeera omugumiikiriza n’omanya nti bizinensi ekula mpola
mpola. l Weewale okukolera mu bumenyi bw’amateeka, kakasa nti olina buli kisaanyizo nga bwe kyetaagisa