Amawulire

Omukuumi atabuse n'omuwala mu bbaala n'amusindira amasasi agamusse!!

Alexander Vincent Kimuli 40, ye yavudde mu mbeera n’akuba Immaculate Mpereza 25, amasasi agamusse, bwe baatabukidde mu bbaala ya People’s Bar e Nansana West II A mu zooni ya Nakkuule.

Omukuumi atabuse n'omuwala mu bbaala n'amusindira amasasi agamusse!!
By: Fatumah Nalubega, Journalists @New Vision

OMUKUUMI wa kkampani ey’obwannannyini atabuse n’omuwala n’amukuba amasasi agamusse.

Alexander Vincent Kimuli 40, ye yavudde mu mbeera n’akuba Immaculate Mpereza 25, amasasi agamusse, bwe baatabukidde mu bbaala ya People’s Bar e Nansana West II A mu zooni ya Nakkuule.

Ssenga w’omugenzi, Pofia Asiimwe atutegeezezza nti, Mpereza yamukubidde essimu n’amusanga ku bbaala nga balina ensonga z’ayagala boogereko.

Abooluganda Lw'omugenzi Nga Bali Ne Bamulekwa

Abooluganda Lw'omugenzi Nga Bali Ne Bamulekwa

Baabadde baakatuuka, ne Kimuli n’ayingira n’ababuuzaako mu ngeri y’okusaagirira n’agamba nga bwe yeegombye Mpereza.

Nti teyategedde kyaggye Kimuli mu mbeera n’afuluma wabweru nga bw’akomawo mu bbaala.

Wabula bwe yafulumye omulundi ogwokusatu, baawulidde ssasi kuvuga kwe kukuba enduulu abantu ne bajja era baagenze okukizuula nga Mpereza amasasi gwe gakubye. Baayise poliisi, eyazze n’ekwata Kimuli nga we twagendedde mu kyapa yabadde akyakuumirwa ku poliisi y’omu Lubigi.

Mpereza alese abaana 3 okuli n’omuto ow’emyaka ebiri. Abooluganda bakyasobeddwa nga tebalina ssente zitambuza mulambo okutuuka ewaabwe e Kanungu gy’alina okuziikibwa.

Ssentebe wa LC I, Dickson Mayiga yasabye bannannyini makampuni g’obukuumi okulambika obulungi abantu be bakozesa n’okusookanga okubakebera emitwe okukakasa nga tebalina buzibu.

Yasabye kkampuni ya Securiko, Kimuli mw’akola eyambe ku ffamire y’omugenzi.

Tags:
Masasi
Kukuba
Muwala
Bbaala