Amawulire

OMUKAZI owolubuto abadde asulirira okuzaala, afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Bududa

OMUKAZI owolubuto abadde asulirira okuzaala, afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Bududa nga bagamba nti walibaawo obulagajjavu okuva mu basawo.

OMUKAZI owolubuto abadde asulirira okuzaala, afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Bududa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUKAZI owolubuto abadde asulirira okuzaala, afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Bududa nga bagamba nti walibaawo obulagajjavu okuva mu basawo.

Sandra khabuya 32 ng'abadde mutuuze w'e Namarare mu muluka gw'e Nabafu mu Ggombolola y'e Bushiribo e Bududa, y'afiiridde mu ddwaaliro lino , gy'abadde atwaliddwa bba ne mugandawe, okuzaala.

Godrey Wabendo ,ensonga azitegeezezza poliisi, nayo ng'etandikiddewo okunoonyereza ku nsonga eno, okuzuula ekituufu ekivuddeko okufaakwe.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti, abantu be, balumiriza abasawo okumulagajjalira n'afa era nga mu kiseera kino, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika okugwekebejja ,ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: