Omukyala omusuubuzi ow'emyaka 30 akwatiddwa poliisi y'e Rukungiri ku bigambibwa nti asobezza ku mwana omulenzi ow'emyaka 15.
Caroline Akankwasa 30, omusuubuzi era nga mutuuze w'e Rwabuteneka cell mu Kagashe waadi mu Eastern diviizoni mu Rukungiri, y'akwatiddwa olw'ebigambibwa nti yasobezza ku muyizi wa ssiniya nti oluvannyuma n'amuwa Ssente obutayogera.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti yamuyise agende ewuwe nti kwe kumusikiriza n'amuyingiza mu kikolwa ekyo kyokka omwana ensonga n'aziroopa mu boobuyinza. Agasseeko n’agamba nti okubuuliriza kugenda mu maaso.