Amawulire

Omukazi eyanoba n'aleka ng'akubye bba akomyewo n'ateeka akazito ku bba agobe omugole omupya gwe yaakawasa akomyewo ye mu maka

Omukazi eyali yanoba akomyewo n'ateeka ku bba akazito agobe omugole gwe yawasa, akomyewo ye mu maka mwe yanoba emyaka egiyise.

Omukazi eyanoba n'aleka ng'akubye bba akomyewo n'ateeka akazito ku bba agobe omugole omupya gwe yaakawasa akomyewo ye mu maka
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Omusajja akalubye ng’agamba nti omukazi ono okunoba yabuuka n’omusiguze n’akudaalira taata w’abaana nga bwe yafunye omusajja omupya amutegeera.

Atayo Sarah yagambye nti ye yali agenze kuwummulamu oluvannyuma lw’amaka gaabwe okuyingira obutabanguko ng’omusajja ayitirizza ettamiiro wabula yali tagenze butadda kubanga n’engoye ze n’ebintu ebirala yabireka.

Atayo Ne Bba Kenyi Mu Ofiisi Ya Kafeero.1212.

Atayo Ne Bba Kenyi Mu Ofiisi Ya Kafeero.1212.

 “Omukazi oyo nga tannasimbula kugenda yankuba eccupa mu kyenyi era yaleka ntonnya musaayi olw’okuba nali munenyezza okubaliga ng’ali mu maka gange,” Kenyi bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti tajja kugoba mukazi gwe yawasa era mukyala mukulu bw’aba asobola agende amwegobere.

Kenyi agamba nti Atayo bwe yanoba eby’okumukuba eccupa yabissa ku bbali n’amwegayirira okumala emyaka 2 akomewo ne yeerema kyokka olwawulira nti yaleeta omukazi omulala ate kati akomyewo.

Atayo yagambye nti tajja kukkiriza omukazi omulala kwegazaanyiza mu byobugagga bye yateganira kubanga omusajja yamusanga talina bintu ne bakola ne baweza ennyumba bbiri n’edduuka.

 

Baabadde mu ofiisi ya Collins Kafeero ekola ku maka, eddembe ly’obuntu n’abaana Atayo gye yaddukidde ng’agamba ayagala bamuzze mu maka akuze omwana omu gwe yaleka azadde.

Kafeero anenyezza Atayo okuleka amaka okumala emyaka wabula n’asaba Kenyi addiremu mukazi we kubanga etteeka limukkiriza okuwasa b’ayagala kasita buli omu amufunira w’amuteeka n’atabagatta mu nju emu.

Baakuddamu okusisinkana oluvannyuma lwa wiiki buli omu ng’amaze okwerowooza.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Bba
Kugoba
Mugole
Kunoba
Maka
Kayunga