KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga avumiridde emivuyo egyetobese mu kulonda kw’ebyalo n’emiruka okwakakomekkerezebwa n’agamba nti gya bulabe eri eggwanga.
Mayiga yagambye nti okulwanagana n’emiggo bwe byetobeka mu kulonda ku byalo ng’ate abantu ba kitundu kimu, bamanyaganye, tekiraga kabonero kalungi ku nkuza y’ebyobufuzi mu Uganda.

Bannalotale aba Kampala Ssese Islands nga bawaayo ceeke ya bukadde 76
Katikkiro okwogera bino yasinzidde Mmengo bwe yabadde atikkula oluwalo okuva mu ggombolola ez’enjawulo okuva mu masaza okuli Bulemeezi, Buddu, Ssingo, Kyadondo, abakyala b’essaza ly’e Ssingo ate ne bannalotale aba Kampala Ssese Islands.
Mayiga yagaseeko nti kibi nnyo okulonda ku mutendera gw’ebyalo bwe kubeeramu emisinde ne kibooko era aleeta emiggo mu kulonda kuno abeera ayagala kulwanya mu kyalo.
Yasabye bassentebe b’ebyalo okulaba ng’ebyalo bibeera bitebenkenvu, abantu nga balima emmwanyi, babeera n’ente ya Kabaka n’enteekateeka endala nga bwe zirambikiddwa Obwakabaka okusitula embeera z’abantu.

Katikkiro Mayiga ng'ayogerako gye bali.
Ku mukolo guno, bannalotale aba Kampala Ssese Islands abakulemberwa kati Ethel Mamawi Kayongo baawaddeyo ceeke ya bukadde 76 ku mulimu gw’okugula eddwaliro eriseeyeeya ku mazzi nga lyakweyambisibwa ku bizinga okuli Ssese ne Buvuma okutumbula ebyobulamu.
Ensimbi zonna wamu ezaaleeteddwa bwabadde obukadde 140. Omukolo gwetabiddwako baminisita okuli Israel Kazibwe ow’amawulire, Nakate Kikomeko ow’enkulaakulana y’abantu, eyaliko Omubaka omukyala ow’e Kiboga Christine Nakimwero Kaaya, omwami w’essaza ly’e Busiro Ssebwana Charles Kibeeru Kisirizza n’abalala bangi.