OLUVANNYUMA lwa minisita wa gavumenti z’ebitundu Balam Barugahara okuyisa ebiragiro ebirungamya enkozesa y’omwenge mu ggwanga, ebitongole by’obwannakyewa ebitakabanira enkozesa y’omwenge bivuddeyo okumusiima nga bagamba nti baakutaasa eggwanga.

Aba Uganda Alcohol policy alliance nga boogerako eri Bannamawulire.
Ab’ekitongole kya Uganda Alcohol policy alliance nga bakulembeddwa Juliet Namukasa basabye bannadiini n’abakulembeeze ku mitendera egy’enjawulo okukwasisa ebiragiro bino kuba bangi naddala mu byalo baafuuka bawaddanga.
Ye Emmanuel mubangizi omu ku basawo b’emitwe ategeezezza ng’omwenge bwe guvuddeko abantu bangi okufuna obukosefu ku mutwe n’asaba abantu okuteekesa mu nkola etteka lino.
Ate kamiisona Hasfwa Lukwata okuva mu minisitule y’ebyobulamu ategeezezza nga bwe bagenda okuteekesa mu nkola ebiragiro bino n’asaba ekitongole ky’omutindo okwongera okulondoola omwenge oguli ku katale.