Bya Ponsiano Nsimbi
BAMBEGA ba poliisi y'e Kira bali mu kunoonyereza ku omugole abadde yaakanjula bba mu bakadde be, ku bigambibwa nti abadde alina abantu be yeekobaana nabo okwagala okumutta.
Rahemah Nakirijja, omukugu mu kubala ebitabo, omutuuze w’e Bweyogerere - Kirinya mu munisipaali y’e Kira ye yakwatiddwa oluvannyuma lwa poliisi okusooka okukwata abamu ku bantu b’agambibwa okukolagana nabo okukubira bba essimu ezimutiisatiisa.
Poliisi eyise mu nkola ey’okutulakinga ennamba ezibadde zikozesebwa okukubira bba Siraje Muteesasira essimu.
Ennyumba Za Muteesasira Nakirijja Kw'asula Ezisangibwa E Bweyogerere Kirinya.
Muteesasira musuubuzi wa mmere ya bisolo era omulunzi w’enkoko ng’alina edduuku e Kireka ku luguudo oludda e Namugongo erya Muteesasira Best Quality Feeds waakolera ne mukyala we omukulu.
Yategeezezza nti embeera ey’okumukubira essimu ezimutiisatiisa ebadde emaze ebbanga lya myezi esatu okutuusa bwe yasazeewo okwekubira enduulu ku poliisi y’e Kira n’aggulawo omusango ku fayiro SDREF;73/06/04/2023 ku ntandikwa y’omwezi guno.
Yannyonnyodde nti abantu ababadde bamukubira amasimu kubaddeko abasajja n’abakazi nga bakozesa ennamba ez’enjawulo kyokka nga bano bamutegeeza nga mukyala we omukulu Annet Namubiru bw’ayagala okumutta.
Muteesasira yagambye nti embeera eno yamutiisaamu era n’atandika okwetegereza embeera za Namubiru kyokka nga tewali kabonero konna kalaga nti waliwo ekikyamu.
Ono amaze naye myaka 17, era nga balina abaana bataano wabula mu mbeera y’emu Nakirijja naye abadde amwaniraza bulungi buli lw’agenda ewuwe yadde nga bukya amuwasa tamulimbangayo yadde olubuto.
Mbega Wa Poliisi Ku Ddyo Ne Rahuma Nakirijja Agambibwa Okubeera Mu Lukwe Lw'okutta Bba.
Muteesasira ne Nakirijja baasisinkana emyaka ena emabega kyokka ng’ebiri abadde ku mirimu e Dubai nga wano amaze naye emyaka ebiri nga mu Febraury w’omwaka guno yamwanjula e Nsangi mu maka g’abakadde be.
Nakirijja okukwatibwa bambega baasoose kukwata abamu ku bantu b’agambibwa akukolagana nabo okuli : Tadeo Masengere gwe bakwatira e Masaka mu Nyendo ng’ono ye yalokomye munne Teopista Kagoya gwe bakwatidde e Kamuli mu Busoga.
Ono olwatuusiddwa ku poliisi e Kira yagasimbaganye ne Kagoya amulumirizza okumukozesa nga wano ne bba we yatuukidde era olwatuuse mu kasenge webabadde bamutadde nafukamira wansi n’amusaba ekisonyiwo.
Nakirijja Ku Mukolo Gwe Ng'ayanjula Bba.
Nakirijja yakirizza eby’okubeera emabega w’ekikolwa eky’okutiisatiisa bba kyokka nga teyannyonnyodde nsonga lwaki abadde akikola.
Luke Oweyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano akakasizza okukwatibwa kwa Nakirijja ne Kagoya kyokka n’ategeeza nga bwe bayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso era nga bwe balinda n’okuwabulwa okuva ew’omuwaabi wa gavumenti.
Yagambye nti abakwatte bagguddwaako omusango gw’okutiisatiisa omuntu.