Paapa Leo XIV asabye emirembe okubukala mu nsi

PAAPA omugole, Leo XIV asabye buli muntu mu nsi yonna okukuuma emirembe n’awali okulwanagana nga e Palestaine, Ukraine n’awalala kukome mbagirawo.

Paapa Leo ku ntaana ya Paapa Francis gye yagenze ku Lwomukaaga. Mu katono ku ddyo bw’afaanana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

VATICA, iTALY
PAAPA omugole, Leo XIV asabye buli muntu mu nsi yonna okukuuma emirembe n’awali okulwanagana nga e Palestaine, Ukraine n’awalala kukome mbagirawo.
Ng’asinziira mu mmisa ye eya Ssande gye yasoose okukulembera nga ye Paapa owa 267, eyabadde mu luggya lwa Klezia enkulu eya St. Peter’s Basilica e Vatican, Paapa
Leo XIV yategeezezza enkumi n’enkumi ’Abakkiriza
abeeyiye mu luggya lwa klezia eno nti ng’ensi yaakamala okujaguza nga bwe giweze emyaka 80 bukya ssematalo owookubiri aggwa,
kisaanye ensi zonna zinywerere ku kusaba bulijjo Paapa Francis kw’akola nti teri
kuddamu ntalo eziringa olwo.
Yagambye nti akwatibwako nnyo okulwanagana okutaggwa wakati wa Yisirayiri n’abakambwe ba Hamas e Gaza, n’asaba lukome n’abantu ababundabunda olw’olutalo luno baweebwe omukisa ogufuna ekyokulya, n’okusumulula abawambe.Paapa Leo, 69,  kati akulembera Abakatoliki abasukka mu kawumbi akamu n’obukadde 600, mmisa ye eyasoose yabaddewo ku Lwamukaaga, eyabaddemu Bakalidinaali mu Klezia yennyini mwe baamulondedde  eya Sistine Chapel n’abasaba bonna okutambulira awamu naye
okwongerayo obuweereza obwatandikibwa Omutukuvu Petero (Paapa eyasooka).
AGENZE KU MALAALO GA PAAPA FRANCIS
Mu kawungeezi k’Olwomukaaga, Paapa Leo XIV yakyaddeko ku Klezia ya Santa Maria Maggiore Basilica, ku bugenyi obutaabadde bwetegekere. Abakkiriza abaabadde mu nnyiriri nga bagenze okulambula
amalaalo ga Paapa Francis baamwekanze abatuuseeko n’abalamusa era n’agenda
 utereevu Francis we yaziikibwa n’amusabira.
Abakatoliki bangi ekikolwa  kino kyabasanyusizza nga bagamba nti ke kamu ku bubonero obulaze nti Leo yanditambulira mu bigere bya Paapa Francis eby’obuteegaggassa n’okufaayo ennyo eri abanaku, abatalina
mwasirizi n’abanyigirizibwa.
PULOGULAAMU YE EYA WIIKI ENO
Okutandika ne leero ku Mmande, Paapa Leo XIV w’agenda okwanjulwa mu butongole
eri emikutu gy’amawulire okuva mu nsi yonna, ate mu nnaku eziddako asisinkane abakungu okuva mu nsi ez’enjawulo okutuusa ku Lwokutaano lwa
wiiki eno.
Ate ku Ssande eno nga May 18, Paapa Leo waakukulembera Mmisa ye entongole eneetandika obuweereza bwe nga Paapa mu butongole nga yaakubeera ku lutikko ya St. Peter’s Basilica