Omugole abadde yaakanjula afiiridde ku kisaawe e Ntebe nga banaatera okulinnya ennyonyi

Yiga Christine Nakachwa, abadde agenda okulya obulamu ne bba Moses Luyima, afiiridde ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’aleka ebibuuzo ku mimwa gy’abantu

Omugole abadde yaakanjula afiiridde ku kisaawe e Ntebe nga banaatera okulinnya ennyonyi
By Stuart Yiga
Journalists @New Vision
#Amawulire #Yiga Christine Nakacwa #Moses Luyima #Seychelles #Kizinga #Kufa

Yiga Christine Nakachwa, abadde agenda okulya obulamu ne bba Moses Luyima, afiiridde ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’aleka ebibuuzo ku mimwa gy’abantu.

Bino byabaddewo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, ku ssaawa 9:00 nga bukya. Nakachwa eyabadde ne bba nga bateekateeka okulinnya ennyonyi eyabadde erina okubatwala mu bizinga bya Seychelles’ ebisangibwa mu liyanja Indian gye baabadde bagenda okwewummuzzaako.

Nakachwa Bw'abadde Afaanana.

Nakachwa Bw'abadde Afaanana.

Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Bbuto, mu diviizoni y’e Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omugenzi ajjukirwa nnyo olw’omukolo gwe yakola ogwali makunale ng’entanda okuli ekibya bwe yali ayanjula bba Luyima, mu maka ga bakadde be mu bitundu by’e Kyotera mu 2023.

Wadde nga w’afiiridde abadde yamala emikolo gy’okwanjula ng’ateekateeka mbaga ye. Allen Blessing, eyali meetulooni we ku mukolo gw’okwanjula yategeezezza Bukedde, nti okufa kwa Nakachwa, kwabakubye wala kuba abadde tamuwulirangako ng’alina awamuluma, ate era nga si gwe gubadde omulundi gwe ogusoose okugenda mu luwummula wabweru wa Uganda.

Omugenzi alese abaana basatu, omulenzi omu n’abawala babiri, ng’asembayo obuto wa myaka esatu gyokka.

Okuva lwe yafudde, obutambi bw’omukolo gw’okwanjula kwa Nakachwa, bubadde busaasaanidde ku mikutu gya yintaneeti, ng’abantu ab’enjawulo beebuuza ekyamusse.

Abaasomako n’omugenzi ku St. Theresa e Bwanda gye yaliko heedigaalo, baamwogeddeko nga omuntu w’abantu era ng’abadde atya nnyo Katonda ng’ayagaliza buli omu.

Yaziikiddwa ku Lwokutaano e Luweero wakati mu biwoobe n’okwaziirana okuva eri abaffamire n’emikwano.

Omu ku batwala ebyokwerinda ku kisaawe e Ntebe yategeezezza nti omu ku basaabaze abaali n’omugenzi yali ddokita era nga yagezaako okuzza obulamu bwa Nakachwa engulu naye nga buteerere.

Oluvannyuma abakulu ku kisaawe baakubira aba Kazuuri Medical Centre ne basindika abasawo abalala ne bamutwala ajjanjabwe kyokka ebyembi baagenda okumutuusa ng’amaze okussa omukka ogw’enkomerero.

Ensonda mu byokwerinda zaatutegeezezza nti ng’oggyeeko Nakachwa, omukazi omulala atemera mu gy’obukulu 76, naye yatondose n’afa, mu ngeri y’emu abasaabaze ne babuna emiwabo.

Okusinziira ku batwala ekisaawe ky’e Ntebe, bano okufa, baabadde bamaze okukeberebwa nga balinze ssaawa ya kulinnya nnyonyi beeyongereyo mu ng’endo zaabwe.