Sarah Atayo eyanoba emyaka ena nga akati ayagala kudda mu maka bba mweyasiza edda omukazi, bba alemeddeko nga agamba nti tamuzza.
Atayo okudduka mu maka yaleka akubye bba Julius Kenyi eccupa bwe baalwana nga omusajja ateeberezza omukazi okubaliga.
Omukazi ayungudde ab'oluganda lwe bajje boogereze omuko yekube mu kifuba amukkirize okudda.
Aba famire ya Atayo okuli taata, Bassenga, baganda be n'abalala beegayiridde Kenyi addiremu omuntu wabwe ave ku bawi b'amagezi abamubuzabuza kubanga ebbanga lye baamala bombi baali bakulakanye.
Omusajja akombye kw'erima nga agamba nti yamala emyaka ebiri n'ekitundu nga yegayirira omukazi akomewo ne yerema ate kati alaba amaze okuwasa omulala nga bazadde n'omwana ate n'akuba enkyukira.
Julius Kenyi agambye nti omutima gwe gwakoowa omukazi ono Sarah Atayo kubanga okudda kwe alinga alina ekigendererwa ekirala.
Wabula Atayo agambye nti amaliridde okudda mu maka ga Kenyi akakkalabye eddya ne bwe kinaategeeza kubeera mu nju abakazi babiri n'oyo omugole Kenyi gweyaleeta takirinaako buzibu.
Bano batuuze b'e Kawolokota mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga Atayo bweyesitula n'agenda ewa Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly’obuntu amuzze mu maka ga Kenyi mweyanoba emyaka ena egiyise era nga okunoba baasooka kulwana omukazi n'akuba omusajja eccupa n'amuleka nga afuuwa musaayi.
Omukazi agamba nti Kenyi yamugamba nti oli yaleeta mukuumi w'awaka era nti kati Atayo akomyewo omusajja agobewo omukuumi we.
Atayo agambye nti omusajja alemeddwa okwetegeerera n'akola ky ntoli za kitaawe (owa Kenyi) era kati yebuzabuza sso nga Kenyii yakubiranga omukazi essimu nga byonna ebigenda mu maaso abigoberera omusajja n'atuuka n'okukakasa nti teyawasa omukazi yamuleeta kumukuumira nju kubanga oluusi omusajja asula mu mirimu gye.
Bonna bakung'anidde mu ofiisi ya Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu era nga Atayo yasooka kugendayo ku nkomerero ya December.
Kafeero asabye Kenyi addeyo ayongere okulowooza era nti ensonga z'amakaage azeetegeerere aleme okuzirekera mukwano gye.
Abalagidde okuddayo mu ofiisi ye nga 20/January era nti ssinga banaabeera tebannakkaanya wakubasindika mu kooti ebasalirewo ekisembayo.