Bya Denis Kizito
EKIKANGABWA n’ennyiike bibuutikidde ekyalo Mugema ekisangibwa mu Kayunga Town Council ne Maya mu Wakiso, omugagga bw’aziise abaana basatu ku lunaku lumu ku kiggya kimu.
Banadda Galiwango alina amaka abiri e Buddo ne Maya mu disitulikiti ye Wakiso ye yagudde ku kibambulira. Yasoose kufiirwa mwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu azaalibwa omukyala we Buddo ku Lwokusatu ku makya.
Akawungeezi ku Lwokusatu, yasindise emmotoka ekika kya Vitz nnamba UBP 536D mu maka ge agasangibwa e Busenge - Maya egende etwale abaana baziike muganda waabwe eggulo e Kayunga.
Kyokka baabadde baakasimbula ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ku Lwokusatu nga batuuse ku luguudo olunene oludda e Kampala, ekimotoka kya Sino Truck nnamba UBM710M ekyabadde kiyisa nga kidda ku lwe Masaka ne kibasaabala.
Abaana Walia Namayanja 13, abadde asoma P6 ne Sharif Bukenya 16, owa S.3 baafiiriddewo awamu ne Muhammad Tulyagi eyabadde abavuga. Ekimotoka kyayingiridde n’ennyumba y’omutuuze ne kigyonoona.
Ronald Kazibwe, omutuuze we Maya yagambye nti akafo awaagudde akabenje okuliraana ekkolero ly’amazzi ga Ice okumpi n’ekitoogo wafuukidde ddala akattiro. Buli luvannyuma lwa nnaku bbiri wagwawo akabenje era yasabye aba UNRA okuteeka mu kifo kino obugulumu.
Vicenti Kitengejja, abadde abeera n’abagenzi e Maya yategeezezza nti abagenzi baasiibye bakola bulungi emirimu. Kyokka kitaabwe yakubye essimu ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo n’abalagira okwetegeka kuba yabadde agenda kubasindikira emmotoka ebakime bagende mu kuziika.
Yagambye nti emmotoka yatuuse kiro ku ssaawa 5:00 n’eteekamu abaana n’esimbula. Kyokka tewaayise ddakiika zisukka 20 ne babakubira essimu nti bafunye akabenje era baagenze okubatuukako nga bonna bafu kuba emmotoka yagoyeddwa nnyo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire yategeezezza nti bali ku muyiggo gwa ddereeva wa Sino Truk eyakoze akabenje kano n’amala n’adduka. Yasabye abavuzi b’ebidduka okwewala okuvugisa endiima naddala mu biseera bye tugendamu eby’ennaku enkulu.
Abaana bonna abasatu baaziikiddwa eggulo ku kyalo Mugema wakati mu bakungubazi okusaba abavuga ebidduka n’abatambuza ebigere okubeera abeegendereza ku nguudo.