Bamasinale ba Iran bazzeemu okukuba emmeeri ezigenda e Yisirayiri

BAMASINALE ba Iran mu Yemen bakubye emmeeri ebadde eyolekera Yisirayiri ne batta abantu 21 okuwamba abantu 6 oluvannyuma ne beewaana nti America tebasobola!

Emmeeri ya Eternity C eyabadde egenda e YIsirayiri ng’ebbira mu mazzi oluvannyuma lw’okukubibwa mizayiro za bamasinale ba Iran.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BAMASINALE ba Iran mu Yemen bakubye emmeeri ebadde eyolekera Yisirayiri ne batta abantu 21 okuwamba abantu 6 oluvannyuma ne beewaana nti America tebasobola!
Abalwanyi bano ab’ekibinja kya Houth ab’akabinja k’aba Houthi emmeeri gye kaakubye eyitibwa Eternity C, ya kkampuni eva mu ggwanga lya Buyonaani ebaddeko abantu 25.
Ekitongole kya Bungereza ekirondoola eby’obusuubuzi ebitambulira ku mazzi ekya UK Maritime Trade Operations (UKMTO) agency, kyagambye nti aba Houthi baasindise mizayiro ne bakuba emmeeri eno, ekyagiviiriddeko okwebbika mu mazzi.
Omwogezi w’aba Houthi Yahy  Saree, yagambye nti obulumbaganyi buno baabukoze, nga bayimirira wamu ne Baganda baabwe ab’e Palestine, Yisirayiri b’eri mu kuwandagazaako bbomu ez’okumukumu buli lunaku, omufiiridde abantu abakunukkiriza emitwalo mukaaga.
Abakozi abaabadde ku mmeeri eno abamu baawambiddwa aba Houthi, kyokka tebannaba kwogera muwendo mutuufu gwe baawambye, naye ng’abali ku muyiggo gw’abantu bano bagamba nti abakozi 15 tebalabikako.
Saree yagambye nti abantu bano  tebaabawambye wabula waliwo ekifo we babakuumidde okusobola okutaasa obulamu bwabwe.
Eggye lya Philippines ery’empingu lyagambye nti abakozi 1 abaabadde ku mmeeri eno
baabadde bannansi baabwe, era ne basaba ensi yonna okusitukiramu okukomya ejjoogo ly’aba Houthi. Omwogezi wa minisitule ya America ey’ensonga ez’ebweru,
Tammy Bruce yagambye nti obulumbaganyi buno, bubalirwa ku Iran kubanga y’eteeka ssente mu bayeekera bano aba Houthi, era n’agamba nti America egenda kuddamu okukola ennumba ku fo z’akabinja kano, okulaba nga tekaddamu kutaataaganya bya
busuubuzi ebitambulira ku mazzi.
Era yalabudde aba Houthi nti singa tebayimbula bantu be baakutte, ne baagala okubakozesa nga akanyeebwa okubaako bye bafuna, bagenda kubakolako ennumba
ez’omutawaana babaleke nga babanyangalazza. Aba Houthi eno emmeeri yaakubiri gye bakubye mu bbanga lya wiiki emu, nga baasooka kubwatula mmeeri ya Magic Seas, nga
nayo ya ggwanga lya Buyonaani ku Ssande ya wiiki eno ne bawaga nti bagenda kukola bwe batyo paka nga Yisirayiri ekomezza olutalo lwayo ne Palestine.
Okuva olutalo lwa Yisirayiri ne Palestine bwe lwabalukawo nga October 7, 2023, aba Houthi bazze bakola obulumbaganyi ku Yisirayiri, ne ku mmeeri ezitwala eby’amaguzi
mu Yisirayiri nga bagamba nti okukikomya Yisirayiri erina kusooka kukomya lutalo lweriko e Gaza.
America, Bungereza ne Yisirayiri  bazze bakola ennumba ez’omutawaana ku ba Houthi bano, kyokka nga bongera kuguma buli olukya. Pulezidenti wa America,
Donald Trump yatandika ennumba ez’omutawaana ku nfo z’aba Houthi mu March w’omwaka guno, ekyawaliriza aba Houthi okukola
 endagaano ne America nga May 6, 2025 ne bagisaba esiriikirizeemu, era nabo ne bagamba nti tebagenda kuddamu kukuba mmeeri za byabusuubuzi.
 Ku ssande, Yisirayiri yakoze ennumba ku nfo z’aba Houthi, ku mwalo gw’e Hodeida, Ras Isa ne Salif, kyokka nabo bongera kusindika mizayiro mu Yisirayiri awatali kutya biyinza kuddirira