Okusaala Eid e Kayunga ; Abasiraamu basabiddwa okukuumira Pulezidenti Museveni mu ntebe kuba akyaliwo

Okusaala Eid e Kayunga kukulembeddwa disitulikiti Khadhi Dr. Sheikh Mohammed Haruna Bukenya ku kyuma kya Naluvule Coffee factory e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga.

Okusaala Eid e Kayunga ; Abasiraamu basabiddwa okukuumira Pulezidenti Museveni mu ntebe kuba akyaliwo
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Amawulire #Museveni #Busiraamu #Eid al Adha

Okusaala Eid e Kayunga kukulembeddwa disitulikiti Khadhi Dr. Sheikh Mohammed Haruna Bukenya ku kyuma kya Naluvule Coffee factory e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga.

Omukyala Nga Atonera Ssentebe Karangwa Sseggwanga.

Omukyala Nga Atonera Ssentebe Karangwa Sseggwanga.

Dr. sheikh Bukenya asinzidde wano ne yennyamira olw’ettemu erikudde ejjembe n’akunga abantu okuzzaawo enkola ya ggwanga mujje okusobola okulikendeeza.

Agambye nti baafunye endiga 200 n’ente ezisoba mu 20 okuva mu b’emikwano era n’asaba Abasiraamu okujjumbira okusaddaaka nga jjajja Nabbi Ibrahim.

Dr. Sheikh Bukenya Ng'akulembedde Okusaala.

Dr. Sheikh Bukenya Ng'akulembedde Okusaala.

Ssentebe wa NRM, Moses Kaliisa Karangwa bw’avudde e Kangulumira agenze ku muzikiti gw’e Bukamba Abasiraamu baayo gye bamugabulidde ekijjulo era eno awaddeyo 1,000,000/- nga kuliko n’ezimutikkiddwa Jackline Birungi Kobusingye RDC w’e Buvuma ku kuwagira emirimu gy’Obusiraamu.

Karangwa asabye Abasiraamu bakuumire Pulezidenti Museveni mu ntebe kubanga ne 2026 akyaliwo basobole okumubanja ebyo by’atannaba kutuukiriza era n’agamba nti abaawula mu madiini bakikomye.

Ssentebe Muwonge Ne Karangwa (ku Ddyo) Nga Bali Mu Kusaala Eid.

Ssentebe Muwonge Ne Karangwa (ku Ddyo) Nga Bali Mu Kusaala Eid.

Ssentebe wa disitulikiti, Andrew Muwonge asabye abantu okulonda abakulembeze nga ba kibiina kya NRM olw’okufuna obuweereza obulungi.