Amawulire

Okukyusa okuva ku nnamba ppuleeti enkadde okudda ku za digito kwa mitwalo 15

OKUKYUSA nnamba puleeti za mmotoka kutandika mwezi guno.

Okukyusa okuva ku nnamba ppuleeti enkadde okudda ku za digito kwa mitwalo 15
By: Samuel Balagadde, Journalists @New Vision

Omwogezi wa minisitule y’Ebyenguudo n’Entambula, Suzan Katayike yagambye nti obutafaananako na nkola ya bulijjo egobererwa mu kugaba ennamba ku luno, ennamba essibwa ku mmotoka bajja kugirondanga bulonzi mu ngeri y’okukubako akalulu.

Yagambye nti enkola eno egenda kukomya okuwuddiisa abaguzi ba mmotoka nga basinziira ku nnambapuleeti ya mmotoka eri okumpi nga tebafuddeeyo ku mutindo gwa mmotoka.

Suzan Katayike ng'annyonnyola.

Suzan Katayike ng'annyonnyola.

“Buli agula ekidduka alina okwebeereramu nga yeeyambisa abakugu okusooka okugyekebejja,” Kataike bwe yagambye.

Ebifo byonna omusanvu om-wekebejjerwa ebidduka gavumenti bye yaguze okuva ku kkampuni ya SGS bye bigenda okweyambisibwa okukyusa nnamba zino.

Eri abo ababa bagenda okugula mmotoka ezaakyusiddwa baba basobola okumanya nnamba ezaaliko mu kusooka olwo ne mukkaanya ku ssente nga musinziira ku bbanga ly’emaze ng’eri mu Uganda ssaako n’endabika yaayo

Mmotoka egenda okukyusibwa okudda ku nnamba za digito yaakusooka kwekebejjebwa bakugu mu byuma okukakasa oba ng’esaanidde okuvugibwa ku kkubo.

Naye mmotoka eteekwa okuba ng’eri mu mannya g’oyo agenze okugikyusa okudda ku nnamba za Digito.

Endabika Ya Nnamba Ppuleeti Empya

Endabika Ya Nnamba Ppuleeti Empya

“Abantu babadde balimbibwa mu kugula mmotoka nga beekwese mu kakodyo ka nnamba eriko ate ng’ebiseera ebimu mmotoka zino zibeera mu mbeera mbi okusinga ezo okuli nnamba enkadde,” Kataike bwe yagambye.

Yagasseeko nti olw’okuba mmotoka ezikyusibwa ziddamu okuweebwa kkaadi endala (Log Book) era nga muno mwe balambikira nnamba kwe yali nga tennadda ku zaabwe eza Digito.

Ebidduka ebirina emisango omuli ng’egyengassi ya poliisi y’ebidduka (EPS) bigenda kusigala nga birondoolwa kuba mu biwandiiko byasigaddemu.

“Wadde ng’okukyusa nnambapuleeti okuva ku nnamba kwe ziri okudda ku za digito tekunnatandika, waliwo ab’ebidduka abasukka mu 1,000 abaamaze edda okuteekayo okusaba kwabwe,” Katalike bwe yagambye.

Okukyusa okuva ku nnamba  ppuleeti  enkadde okudda ku za Digito kwa 150,000/- eri mmotoka ate pikipiki za 50,000/-.

Tags:
Amawulire
Nnamba puleeti
Kukyusa
Nkadde
Digito