Okugaba ssente z’Emyooga abantu basooke basomesebwe

ABAKULEMBEZE n’abasuubuzi b’e Gaba mu munisipaali y’e Makindye beemulugunya ku butasomesebwa bw’abantu ku nkozesa ya ssente z’Emyooga ezaagabibwa gavumenti abantu okwekulaakulanya.

Okugaba ssente z’Emyooga abantu basooke basomesebwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Emyooga

Bya Benjamin Ssemwanga

ABAKULEMBEZE n’abasuubuzi b’e Gaba mu munisipaali y’e Makindye beemulugunya ku butasomesebwa bw’abantu ku nkozesa ya ssente z’Emyooga ezaagabibwa gavumenti abantu okwekulaakulanya.

Bano bagamba nti abantu abasinga ssente zino baaziteekamu ebyobufuzi bingi nga bategeeza nga gavumenti bwe yabawa ssente zino nga zaakulya na kweyambisa kumala bizibu byabwe waka wabula ssi zaakwewola ng’abakulembeze baabwe bwe babagamba.

Bino byabadde mu nsisinkano n’omubaka wa Makindye East, Derrick Nyeko ku Lwokusatu e Gaba ng’alambula ebibiina ebyaweebwa ssente z’Emyooga mu kunoonyereza Betty Among amyuka Sipiika wa palamenti kwe yabatumako.

Sulaiman Migadde ssentebe wa Gaba Fishermen, Myooga SSACCO yategeezezza nti e Gaba baafuna ssente naye obwetaavu bukyali bungi ku ssente zino ng’emirimu gye bakola beetaaga okwewola ku ssente eziwera emirimu gyabwe gisobole okutambula okusinga ku bukadde 30 ze baabasindikira.

Charles Luba Lwanga, Sipiika wa Kanso e Makindye yagambye abantu baggye ebyobufuzi mu ssente za Gavumenti wabula bazikozese bulungi okusobola okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.

Omubaka Derrick Nyeko yakubirizza abantu abaafuna ssente z’Emyooga okukozesa obwerufu nga bazikozesa n’abantu bonna baweebwe omukisa okusobola okuzikozesa nga tebataddemu magoba mangi eri abo ababeera bagenze okuzeewola.