OWA UPDF asingisiddwa ogw'okukuba owa booda booda amasasi n'atwala piki piki ye.
Lt Paddy Nahabwe abadde avunaanibwa wamu ne James Niwamanya nga bavunaanibwa okukuba Samson Nteza amasasi agaamutta oluvannyuma ne babba Boda ye ng'akozesa eryanyi ly'emmundu.
Bano babadde bawerennemba n'emisang ebiri ogw'obutemu n'obwakkondo mu kkooti y'amaggye e Makindye.
Ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Mugabe bwabadde asoma ensala ya kkooti agambye nti okusinziira Ku bujulizi bwoludda oluwaabi ababiri bano beenyigira butereevu mu kuzza emisango Gino wadde ngababiri bano mu kwewozaako kwabwe beegana emisango.
Obujulizi kkooti kwesinzidde okusingisa bano emisango kuliko obwobuuma obulumika obwali bwateekebwa mu booda booda gyebabba obwalaga booda gyeyagyibwa okutuuka mu disitukiti ye Gulu gyebaagitunda nga bamaze okutta Nteza.
Obujulizi obulala kuliko Ebiwandiiko okuva mu kkampuni zamasimu ezalaga entambula zabawawabirwa mu kiseera webaddiza emisango ssaako ebbaluwa yomukugu eyeekebejja emmundu ekika kyamasasi namasasi agaakubwa omugenzi eyakakasa nti byali bikwatagana bulungi.
Bano emisango egibasinze baagizza nga October 13,2018 e Nkuzongere katale ward mu disitukiti ye Nakaseke nekigendererwa ekikyamu era ekirowoozeddwako ngabakozesa emmundu batta Nteza nebakuulita ne boda boda ye nnamba UEF 930 J.
Bawolerezebwa Emmanuel Turyomwe ne Elizabeth Nyansingwa.
Oludda oluwaabi kuliko Col Raphael Mugisha , Capt Ambrose Guma, Lt Gift Mubehamwe nabalala.