OW'AKABINJA akatingomya Kyengera nga banyagisa mmundu kkooti emusindise mu kkomera akulunguleyo emyaka 30..
Kkooti y’amaggye yasindise Mohammed Balikoowa mu kkomera oluvanyuma lw’okusingibwa ogw’obwakkondo n’okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka.
Balikoowa 49 nga muvubi yakwatibwa mu kabinja kababbisa emmundu era emmundu eyali ekozesebwa yasangibwa mu makaage gyeyali abeera ne muganzi we Teopista Mbabazi e Namagoma kyokka baasimbibwa mu kkooti y’amaggye nebegaana emisango okutuuka lwegwawuliddwa negubasinga era nebaweebwa ekibonerezo.
Ssentebe wa kkooti y’amagggye Brig Gen Freeman Mugabe bweyabadde asindika Balikoowa mu kkomera yagambye nti kkooti yazudde nti musajja mukulu , alina famire n’abaana ab’okulabirira wabula emisango gy’obwakkondo gyeyongedde nnyo mu ggwanga.
Yagambye nti n’olwekyo bakkiriza n’oludda oluwaabi nti wasaana okubaawo ebiboerezo ebikakali okuziyiza abayinza okuzza emisango gino.
Bwetyo kkooti yazudde ng’ekibonerezo eky’emyaka 35 kijja kumumala ku musango gw’obwakkondo ate ennaku 21 ku gw’okubeera n’emmundu mu bukyamu.
Wabula kkooti yamukoledde ekisa neetolako emyaka ebiri n’emyezi etaano gy’amaze mu kkomera, era yatoddeko omwaka gumu n’emyezi ena ng’ekisonyiwo olwo waakusibwa emyaka 30 ,omwezi gumu n’ennaku Mwenda mu kkomera.
Ate muganzi we Teopista Mbabazi yasingibwa ogw’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu era yawereddwa ennaku 21 mu kkomera oluvanyuma lwa kkooti okutolako emyaka ebiri n’emyezi etaano gy’amaze mu kkomera.
Bano baali bavunaanibwa wamu ne Ashiraf Ssendawula Ssekulima 50 ow’e Nsangi , Faizal Mutaawe 24, akola obwa bulokka yakkiriza emisango nasibwa emyaka 19, ne Jonathan Mwanje Drake
Obujulizi bwakakasizza nti nga June 15, 2022 e Kiyanja zooni mu Kyengera tawuni kanso nga balina emmundu babba boda ya Peter Wahadatu nga bakozesa emmundu ekika kya SMG gyebaali babbye ku mukuumi wa kkampuni y’obwannannyini ku ssundiro lyamafuta e kyengera.
Kkooti era yabavunaana okusangibwa nn’emundu eya UPDF ng’ate bantu baabulijjo nga tebalina nalukusa kubeera nayo.