Ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku mukazi abba mmotoka n’azitunda kyongedde okutabulwa bwe kizudde nti amannya n’ebifaananyi by’omukazi ono okuli ne bye baasabye okuva mu NIRA tebikwatagana.

Densite Mu Mannya Ag’enjawulo Ze Baamusanze Nazo.
Omukazi ono yakwatiddwa poliisi y’e Kyotera wamu n’omusajja Badru Kamoga nga kigambibwa nti be bamu ku kibinja ky’abafere abapangisa mmotoka okuva e Kampala nga beefudde abagenda okuziika e Masaka, Kyotera ne Rakai wabula bwe batuuka eyo nga bazitunda.
Omukazi ono abadde yeeyita amannya ag’enjawulo okuli; Alice Janet Banga omutuuze w’e Bunnamwaya Ngobe zooni mu Wakiso ate olumu nga yeeyita Mable Nalwoga ate olulala nga yeeyita Maama Carol.
Yasangiddwa ne densite ez’enjawulo nga kuliko obufaananyi wabula nga bwonna tebufaanagana.
Yasangiddwa n’essimu mwenda nga zonna zirimu layini, ssaako kkaadi za mmotoka enjingirire n’ebyapa by’ettaka. Aduumira poliisi y’e Kyotera, Hassan Musooba yategeezezza nti omukazi ono okukwatibwa kyaddiridde okupangisa mmotoka ekika kya Wish nnamba UBM 783Q okuva ku Erick Oboth ow’e Makerere ne bagitwala e Kyotera.
Nnannyini yo yali yagissaamu akuuma akalondoola era bwe yabakubira essimu okukomyawo mmotoka ye nga bamubuzaabuza kwe kutegeeza poliisi eyatandika okugirondoola nga bakozesa akuuma ako.
Baagisanze ne Domazo Mukasa ow’e Kisuula okumpi ne Lwanda e Rakai eyategeezezza nti baagimuguza ku bukadde 12.
Kigambibwa nti omukazi ono abadde akolagana n’abantu ku byalo naddala e Kyotera n’e Masaka nga be baziga abalimi abafunyeemu ku ssente nga baagala okugula mmotoka ne babafunira mmotoka ne kkaadi zaako, wabula nga ziba njingirire.
Poliisi yategeezezza nti omukazi ono abadde akolagana n’abantu abalala abakyanoonyezebwa.
Aduumira poliisi, Musooba yagambye nti omukazi ono era baamusanze n’ebyapa ebiri mu mannya ga Alice Janet Banga, bye bateebereza okuba nga nabyo bijingirire.