Bya Frederick Kiwanuka
FLORENCE Naggayi Namwandu w’omujaasi Col. Jet Mwebaze (eyafiira mu kabenje k’ennyonyi mu 1998) , abasenze bamulemesezza okusenga ku bwaguuga bw'ettaka eriri e Luweero, omugenzi bba lye yamulekera.
Kino kiddiridde abasenze okusaawa emmere gye yali asimbye n'okusaanyawo ennyumba Naggayi gye yali atadde ku ttaka erisangibwa ku kyalo Mputte - Kacwampa mu ggombolola y'e Katikamu mu Disitulikiti y'e Luweero.
Okusinziira ku biwandiiko ebiriwo, omugenzi Jet Mwebaze' eyafiira mu kabenje k'ennyonyi e Kasese mu 1998, yalina ettaka lye yagula mu kitundu kino eriwerako yiika 150.
Okusinziira ku ddaame omugenzi lye yaleka , Naggayi ng’ono y’azaala Lilian Mbabazi muwala wa Jet Mwebaze omukulu , aliko yiika 50 ze yaweebwa ku ttaka lya bba .
Okusinziira ku ddaame lye limu, Naggayi ly'ayinako kkopi, omugenzi Mwebaze aliko yiika endala 50 ze yalaamira muwala we Lilian Mbabazi , Naggayi gw'azaala.
Kyokka Naggayi yategeezezza nti okuva ye ne muwala we lwe baasikira ettaka lino balemeddwa okulibeerako olw'obukambwe lw' abasenze abaliriko.
Naggayi yagambye nti abasenze baasooka kugwa mu kasooli we gwe yalimira ku ttaka eryo eyali aweza yiika ttaano ne bamulya yenna , ate oluvannyuma ne bamenya ennyumba gye yali azimbyeyo.
Naggayi kati eyeewogomye ku kyalo Ggita okumpi n’e Gayaza mu Kampala , bwe yali azimba ennyumba abasenze gye baamenye, yamala kupangisa baserikale ba poliisi abaamukuumanga mu biseera by'okuzimba .
Naggayi ne muwala we beekubira enduulu eri amaka g' obwapulezidenti, ku Lwokuna oluwedde, abaagenze ku kyalo Mputte -Kachwampa ne boogera eri abatuuze.
Abakungu be bamu abaavudde mu maka g'obwapulezidenti, baliko abantu babiri nga kuliko ssentebe w'ekyalo , be baagenze nabo ne babaggalira nga Naggayi abalumiriza nti be bakuma omuliro mu batuuze.
Okusinziira ku RDC w' e Luweero, Richard Bwabye, Naggayi amaze akaseera ng’agugulana n’abasenze abali ku ttaka eryo ,ng’era azze atuula mu nsonga zaabwe okugezaako okubatabaganya.
Naggayi yagambye nti mumalirivu okubeera ku ttaka bba lye yamulaamira ,wadde ng’abatuuze bagezaako okumulemesa.