Amawulire

Nnaabagereka Sylvia Nagginda alagidde abakyala okukuuma obutonde bw'ensi

NNAABAGEREKA Sylvia asabye abakyala okubeera abasaale mu kulwanirira obutonde bw'ensi nga kino kyakusobozesa okutumbula enkulaakulana.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda alagidde abakyala okukuuma obutonde bw'ensi
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Bya Dickson Kulumba

NNAABAGEREKA Sylvia asabye abakyala okubeera abasaale mu kulwanirira obutonde bw'ensi nga kino kyakusobozesa okutumbula enkulaakulana.

Bino Nnaabagereka yabyogeredde Bulange-Mmengo ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’abakyala mu Buganda eggulo n’agamba nti kikakata ku bakyala nga bannakazadde b’eggwanga okwewa obuvunaanyizibwa okubeerako kyebakola mu kutumbula  obutonde bwensi.

Ebijaguzo bino bibumbujjidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “Abakyala n’Obutonde bwensi” ng’abakyala okuva mu masaza ag’enjawulo baayoleseza ebintu eby’enjawulo ebigenderera okuggyayo omulamwa guno.

Essaza ly’e Buweekula lye lyasinze okwolesa nga baoyolesezza omulimu gw’emmwaanyi okuviira ddala mu kugisimba okutuuka lw'etuuka mu kikopo era bano baakwasiddwa ceeke ya 1,000,000/- nga yakwasiddwa abakulira Annunciate Natyaba Kasumba ate Kyaggwe yakutte kyakubiri.

Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kaawaase Kigongo yategeezezza nti okusaanyawo obutonde bw'ensi kwongera kukaluubiriza bakyala bulamu ng’okutema ebibira kubuza amazzin' enku abakyala bye bavunaanyizibwako mu maka ng’okubifuna kufuuka kuzibu bw'atyo n’abasaba  okukulemberamu kaweefube w’okutaasa obutonde bwensi.

Ye Minisita w’ekikula ky’abantu mu Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnabagereka Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asabye Abataka abakulu b’ebika okulaba ng’abakyala nabo baweebwa obuvunaanyizibwa mu mirimu ng'ebika kubanga bakozi.

Jason Evans nga y'akulira ekitongole kya World Vision yategeezezza nga bwe bagenda okukolagana n’Obwakabaka okutumbula omwana omuwala n’ensonga z’abakyala kubanga be basooka okukozesa okutyoboolebwa kw’obutonde bwensi.

Ate Ssentebe w’abakyala mu Buganda, Agnes Kimbugwe yeebazizza Nnaabagereka olw’okukumaakuma abakyala ba Buganda n’okubasakira emikago egigendereddwa okubakulaakulanya.

Tags:
Nnaabagereka
butonde bw'ensi