Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiika abantu n'okugaba densite mu ggwanga kisabye abayizi bonna okwewandiisa basobole okufuna NIN nnamba.

Mushabe Ng'annyonnyola.
Omwogezi w'ekitongole kino, Osiborn Mushabe yagambye nti abazadde balina okufaayo eri abaana baabwe abaakava mu masomero okubatwala bawandiisibwe basobole okufuna NIN nnamba kuba yeetagisa mu biseera bino naddala nga abayizi beewandiisa okukola ebigezo byakamalirizo .
Yagambye nti waliwo abayizi abamu mu kwewandiisa nga baakozesa ennamba z'a basomesa so nga buli muyizi yandibadde afuna eyiye.
Okwewandiisa omuzadde alina okuwa omuyizi fotokkopi ya densite ye kuba mu kiseera kino bali mu luwummula .
Yagasseeko nti omuyizi yenna asusizza emyaka 16 asobola okugenda ne yeewandiisa n’afuna densite eyiye nga kino okukikola alina okugenda n’addamu n’awandiisibwa ne bafuna ebimukwatako ebibye nga omuntu kuba abali wansi w'emyaka 16 babeera beesigama nnyo ku byabazadde baabwe.