Amawulire

Nawangula mu lwatu ng'ensi yonna eraba - Kaweesa ow'e Katooke

Ssentebe wa Katooke B mu munisipaali y’e Nansana Ying. Steven Kaweesa asekeredde abeesunga okuddamu okwetaba mu kulonda mu kitundu kino ng'agamba nti ye yawangula mu lwatu ng’ensi yonna eraba era alinze kulayira.

Nawangula mu lwatu ng'ensi yonna eraba - Kaweesa ow'e Katooke
By: Steven Kiragga, Journalist @New Vision

Ssentebe wa Katooke B mu munisipaali y’e Nansana Ying. Steven Kaweesa asekeredde abeesunga okuddamu okwetaba mu kulonda mu kitundu kino nga agamba nti ye yawangula mu lwatu ng’ensi yonna eraba era alinze kulayira.

Kaweesa n'abawagizi be nga bawaga

Kaweesa n'abawagizi be nga bawaga

Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okufulumya olukalala lw’ebyalo ebikyekenneeyezebwa ku bigambibwa nti okulonda kwalimu emivuyo nga n’eyalo kya Katooke kwekiri.

 

Kaweesa yalangirirwa ku buwanguzi bwa ssentebe ng’asinzeeko banne obululu bubiri bwokka ekyavaako abaali bavuganya okuwakanya ebyava mu kulonda kuno.

 

Kaweesa eyali munnakibiina kya NUP lukulwe yakyabulira ne yeesogga NRM ng’alumiriza aba NUP okumulyako ssente nga bamusuubizza okumuwa kkaadi y’ekibiina ku bubaka bwa munisipaali y’e Nansana..

 

Yategeezezza ng’ekitundu kye bwe kitayinza kubaamu kuddamu kulonda era n’alumiriza nga bwe waliwo abamulwanyisa okulemesa ekirooto kye okubaako omubaka wa palamenti.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Ssentebe
Katooke
Kaweesa
Nansana