Bya Hannington Nkalubo
MUBAKA omukazi owa Kayunga, Idah Erios Nantaba azze mu Bukedde n'annyonnyola ku lutalo lw'ettaka olwasituse e Kayunga olwavuddeko n'olukiiko !we yabadde ayise okuyiika.
Nga yenna ayogeza busungu, Nantaba yalumbye omubaka w'essaza ly'e Bbaale Charles Tebandeke nti mukulembeze mu kitundu ekyo naye tayagaliza bantu, alina bigendererwa bya kukola ssente.
Yalambuludde nti kiri ku likodi yalwanyisa abantu abazze banyigiriza abatuuze ku tt:aka era mu nkola yeemu yabadde ayise olukiiko Juno kulwanirira batuuze okukakasa nti tewali alina buyinza kubasindiikiriza kuva mu bibanja byabwe kyokka ab'omutima omubi tebakkirizza lukiiko kutuula olw'ebigendererwa byabwe ebitali birungi ..
Bino biddiridde akanyoolagano akaabadde ku kyalo Lugasa mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga, abantu gye baatwalidde Nantaba entyagi nga bamulumiriza okwekobaana n'omugagga.
Omubaka Nantaba yakitadde ku mubaka munne Tebandeke nti nga yeekobaana n'abakulembeze ku ggombolola, bassaawo obukwakkulizo okulemesa nnannyini tt:aka okutuuka mu batuuze.
Wabula omubaka Tebandeke yayanukudde Nantaba nti by'ayogera agezaako kubuzaabuza n'okubikkirira amazima.
"Ekyo kitundu kyange kye nkiikirira. Ayinza atya obutampita? Nze n'olukiiko nalutegeeredde mu batuuze balala," Tebandeke bwe yannyonnyodde.
Tebandeke yayongeddeko nti waliwo Nantaba ky'ataggyaayo bulungi naddala bwe kituuka ku kwogera ku bwannannyini bw'ett:aka eryo. "Ekyapa kye twalabye kiri mu mannya ga Enock Wasswa ekyafulumizibwa mu 2018 kyokka ate nnannyini kyapa teyabaddewo, twabadde ne Rev. Yusuf Turwomwe nga ndaba ababiri tebakwatagana," Tebandeke bwe yagambye.
Wabula Nantaba yayanukudde nti ye bwe kituuka ku kusengula abantu, tasobola kukikkiriza era bwe yali mu minisitule y'ebyett:aka, yatunuulira ekyapa kya Rev. Turwomwe nga gyekiri kyokka bwe yawulira ate ng'omubaka Tebandeke yeegasse n'abakulembeze ku ggombolola nga bagezaako okulemesa nnannyini tt:aka okutuuka ku batuuze, ye (Nantaba) n'abiyingiramu asobole okuyamba enjuyi zonna.
Yabuuzizza nti Tebandeke bw'aba alumirirwa abatuuze, bulijjo alinda ki okutuuza olukiiko annyonnyole abatuuze.