Omusajja akiguddeko omukazi gwe yalonze ekkubo bw'amufiiridde mu kifuba nga beesa empiki z'omukwano
Bino bibadde mu zooni ya Mabale mu kabuga k'e Kasana e Luweero, omukazi Jalia Nantaba 38, omusuubuzi era omutuuze w'e Kiwogozi ward e Luweero , bw'afiiridde mu kifuba kya Joel Senyonga 40, ddereeva wa takisi mu nnyumba gye yamututte.
Kigambibwa nti omukazi ono baamulonze ekkubo ku saawa bbiri ekiro ku Lwokubiri, nti ne beesanyusaamu , n'afa ku ssaawa 9 nga bukya.
Kyategeezeddwa nti oluvannyuma lw'okukizuula ng'afudde, Senyonga yasibidde omulambo mu nnyumba n'atemya ku mikwano gye okumuyambako basitule omulambo bagusuule mu nsiko, nabo kwe kutemya ku poliisi eyamukutte.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima agambye nti Senyonjo yakwatiddwa , omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Luweero okwekebejjebwa.