Bya Johnbosco Mulyowa Bukomansimbi
Omuwala eyeeyise erya Gladys ategeezezza nga bwe yavudde e Najjeera mu Kampala gy’akolera obwaddoobi akkukulumye obutamulaga ng’omu ku bannamwandu ba Haruna Kayondo abadde ddereeva wa Gen.Katumba Wamala eyakubiddwa amasasi.
Kayondo aziikiddwa olwaleero e Lugando mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Gladys agamba nti ye mukyala wa Kayondo nnamba bbiri yadde abadde tannamuzaalamu mwana era ng’ayagala naye ku buyambi bwa bannamwandu bamubalireko kuba amaze ekiseera nga baagalana ne Kayondo.
Abakungubazi Nga Bagumya Nnamwandu Omukulu Irene Achan.
Ono agamba nti n’olunaku lwe yattiddwa yabadde amusuubiza nti waakusula wuwe kw’olwo ng’avudde mu lumbe gye yabadde atutte mukama we bamale balumbibwe abatemu abaamukubye amasasi agaamusse.
Ono ategeezezza nti Kayondo abadde ateekateeka na kumwanjula waabwe ng’omukyala owookubiri era abooluganda lwa Kayondo ababadde bamanyi nti mukyala we be baasoose okumukubira ne bamutegeeza nti bba attiddwa.
Gladys abadde Bukomansimbi okuva Kayondo lwe yattibwa okutuusa leero lwaziikiddwa.
Wabula mu lumbe nnamwandu omukulu Irene Achan yekka yalagiddwa abakungubazi era n'abuuza ku bantu.