Bya Saul Wokulira
Mzee Musa Kasimba eyafiiridde ku lugendo Olutukuvu olw’e Mecca abaffamire ye bakkiriza nti Katonda yawulidde essaala ze yamusaba nga yaakatuuka e Mecca.
Batutegeezezza nti Kasimba ono yali Mukrisitaayo naye n'akyuka n'afuuka Musiraamu.
Sheikh Ishak Mutengu owa Africa Moslem Community Bukoto - Nateete nga ye mutabani wa Mzee Kasimba omukulu atugambye nti mukadde we olwatuuka e Mecca yategeeza buli muntu nti tewali nsonga emuzza Uganda kubanga ekifo mwe yali yalaba ng' ali kumpi ne Katonda.
Kasimba yafiiridde ku myaka 88 era ng' Abasiraamu bakung’anidde mu makaage e Kiteredde mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga okumusaalira era ng'obwedda bawuliziganya ne bannaabwe ababadde e Mecca omugenzi gy’aziikiddwa leero ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo nga basoose kumusaalira mu muzikiti omukulu ogw’e Mecca.
Abasiraamu Mu Kusaalira Omugenzi Kasimba Eyafiiridde E Mecca.
Sheikh Mutengu agambye nti Kitaabwe okugenda okulamaga abaana be baasalawo okukimuwa ng' ekirabo olw’obunyikivu bw’abadde nabwo mu ddiini ate nga yagiyingira bukulu.
"Omanyi kitange yali Mukrisitaayo era ng'abuulira n'enjiri naye n'akyuka mu 2007 n'adda mu ddiini y'Obusiraamu ate nagyagala nnyo,'' Sheikh Mutengu bwe yagambye
Fadhil Ali omu ku baatambula n’omugenzi agambye nti mzee Kasimba yakoze emikolo gyonna ng' ali mu nsi entuku era nga buli kimu obwedda akikola n’amaanyi n’okwagala era afudde Hajji omujjuvu.
Fadhil Ali agambye nti jjajja we Kasimba yanafuye mu mubiri oluvannyuma lw’emikolo wabula n’amira empeke za panado nga balowooza nti bukoowu wabula yeeyongedde okunafuwa nga bategeka okudda mu Uganda era ne bafuna ambyulensi eyamututte mu ddwaaliro gye baamuteereddeko eccupa z’amazzi n’atereeramu katono wabula oluvannyuma ne bakabatema nti Allah amujjuludde.
Basheikh bakuutidde Abasiraamu okulabira ku mugenzi Hajji Kasimba olw’obujjumbize bwe mu by’eddiini ate n’okweyisa obulungi ku kitundu.