Bino bibabuuliriddwa omusumba Eddward Walakira owe Ssesse ku kkanisa ya St Steven's Kibanga C.O.U e Ssesse .
Okusaba kujjumbiddwa abantu abenjawulo era nga kubaddemu n'okusiibula abaweereza okuli Omusumba Edward Walakira eyasindikiddwa ku Martyrs Church e Nateete awamu n'okusiibula omubuulizi Edman Kisenyu gwebasindise e Jjungo Mirembe.
Omusumba asabye abantu okukomya ebikolwa ebimalawo emirembe n'agamba nti ensi erina kuba nsanyufu y'ensonga lwaki Yesu yazaalibwa.
9841d4a3 960b 49b5 Add9 A3c1f2cec35e
Omusumba Edward era yeebazizza Abakristaayo olwokukolagana naye okumala emyaka 7 gy'abadde nabo era ne yeebaza n'omulabirizi w'e Namirembe Bp. Kityo Luwalira kuba abadde taata gy'ali.
Ate ye Omubuulirizi Edman Kisenyu naye yeebazizza nnyo Abakristaayo abamulabiridde ne mu biseera bya Covid era n'abakuutira okusigala nga bakwatagana n'abaweereza abalala abanaasindikibwa mu kkanisa eno.
D9e526df 7e5b 4f65 9bc9 61f9d2e691d4
Oluvannyuma Abakristaayo bawaddeyo ebirabo ebyenjawulo okubadde ne sementi ensawo 30 okusiima omusumba n'okumusibula era n'omubuulizi ne bamukwasa ebirabo ebyenjawulo.