Munnamateeka Nteza yejjeerezeddwa omusango ogubadde gumuvunaanibwa: Kati alya butaala

KKOOTI enkulu eyimirizza omusango ogubadde guvunaanibwa munnamateeka w'omu Kampala Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & co. Advocates abadde avunaanibwa ogw'okufuna ssente mu lukujjukujju. 

Munnamateeka Nteza yejjeerezeddwa omusango ogubadde gumuvunaanibwa: Kati alya butaala
NewVision Reporter
@NewVision

KKOOTI enkulu eyimirizza omusango ogubadde guvunaanibwa munnamateeka w'omu Kampala Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & co. Advocates abadde avunaanibwa ogw'okufuna ssente mu lukujjukujju. 

Nteza abadde avunaanibwa aba kkampuni ya Interlink Education services omusango ogw'okufuna obukadde 195, kigambibwa nti abaana b'omugenzi George Kamya baguza kkampuni ya Interlink Education services ettaka eriwezaako yiika 15, erisangibwa e Gimbo Busiro ku bbulooka 220, poloti 64. 

Omulamuzi Isaac Muwata bwe yabadde awa ensala eno yategeezezza nti olw'okuba waliwo omusango ogw’engassi aba Interlink Education services gwe baawaabira abaabaguza ettaka lino ne munnamateeka waabwe Nteza mu 2014. 

Bano babadde bavunaana abaabaguza ettaka okulemwa okutuukiriza ebyali mu ndagaano y'obuguzi n'obutunzi okwali okubawa ekyapa n'okuggya abasenze ku ttaka lye baabaguza. 

Omulamuzi yagasseeko nti ensalawo ya kkooti Enkulu mu musango gw'engassi ejja kuba emala okusalawo  eggoye kw'ani yatunda n'ani alina okuzza ssente obuguzi bwe buba bwalema. 

Olw'okwela okuwa ensala ezikontana mu kkooti Enkulu n'eya wansi omulamuzi Muwata yakirabye nga waliwo obwetaavu okuyimiriza omusango mu kkooti ento ogubadde mu maaso gw'omulamuzi Fedelis Ottawa ogwateekebwayo mu 2022, kkooti Enkulu esobole okumaliriza okuwuliriza n'okuwa ensala yaayo mu musango ogwasooka. 

Omulamuzi Isaaca  Muwata

Omulamuzi Isaaca Muwata

Yannyonnyodde nti singa omusango aguleka ne gugenda mu maaso mu kkooti ento Nteza eyali munnamateeka w’abaguza aba Interlink Education services ettaka ajja ku kosebwa. 

Omulamuzi okuyimirizza omusango guno kiddiridde munnamateka Nteza okwekubira enduulu mu kkooti Enkulu ng'awakanya emisango egyamuggulwako mu kkooti ento mu maaso gw'omulamuzi Fedelis Ottawo, era ng’eno  Nteza gye yasooka okuteeka okusaba kwe ng'ayagala omusango guyimirizibwa okutuusa nga ogwasooka okumuggulwako mu kkooti Enkulu gumaze okuwulirwa. 

Ebiwandiko bya kkooti biraga nti abaana b'omugenzi Kamya baaguza aba kkampuni ya interlink Education services ettaka lyabwe ery'obusika mu 2013 ku bukadde 195. 

Munnamateka Nteza yasanyukidde ensala y'omulamuzi n'agamba nti okuva lwe bamuggulako omusango guno azze aguwakanya ng'ayita mu mateeka era alumiriza nti waliwo ekigendererwa eky'okumononera erinnya nga bamuggulako omusango ogutalimu nsa kubanga amateeka galagira nti munnamateeka tavunaanibwa lwa nsobi za muntu gw'awolerezza. 

Login to begin your journey to our premium content