‘Mukazi wange mwenzi naye mwagala’

TAATA w’abaana abaggyiiridde mu nnyumba, abasatu ne bafiirawo naye n’asimattuka, ayogedde ebyama ku mwana nnyina gwe yagabye mu kufa, n’ategeeza nti, ye abadde akimanyi.

Maureen Mbabazi maama w’abaana abaafudde nga bamuwanirira.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

TAATA w’abaana abaggyiiridde mu nnyumba, abasatu ne bafiirawo naye n’asimattuka, ayogedde ebyama ku mwana nnyina gwe yagabye mu kufa, n’ategeeza nti, ye abadde akimanyi.
Ernest Kato Mugerwa 38, omutuuze w’e Busega mu zooni ya Kitaka, eyagwa ku njega oluvannyuma lw’ennyumba ye okukwata omuliro mu kiro ekyakeesa Mmande nga yeebase n’abaana be 4, basatu ne bafiirawo agamba nti, eby’omwana yabitegeera yaakazaalibwa nti, si wuwe.
Enkeera abooluganda bwe baali bagenda mu ggwanika okuggyayo emirambo gy’abaana okuziikibwa, omukazi n’akabatema nti, omulambo gw’omwana omuto, Moses Muwanguzi 3, bagulekeyo kuba yamuzaala bbali.
Kyannyogozza abooluganda ne basigala mu kusoberwa ne baagala n’emirambo emirala nagyo gisooke kukeberwa ndagabutonde si kulwa nga baziika abatali baabwe.
Mugerwa yasimattuka ne mutabani we omukulu Marvin Mugerwa 12, ne batwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya gye baavudde ku Lwokubiri okugenda mu kyalo e Bujonjo mu muluka gw’e Namiryango, ggombolola y’e Bukuya mu disitulikiti y’e Mubende gye baaziise abaana ababiri; Daniella Nalukwa2go,10, ne Darius Lukwago,6, ate ye omuto Moses Muwaguzi yaziikiddwa Mbale ewa kitaawe.
Mugerwa agamba nti, yakomawo awaka ku Ssande ssaawa ssatu ez’ekiro ng’akooye era yatuukira mu kisenge kwebaka, nti wabula mukyala we Maureen Mbabazi ne muganda we Joan Nambasa gw’abadde abeera naye awaka ate ne bafuluma ne bagenda nga tebamugambye, ng’abaana abamu baali beebase ate abalala ngabatunula.
Agamba ekya mukyala we okufulumanga ekiro n’agenda, abadde yakimanyiira kuba abadde atera okukikola, nga ne ku luno bwe baafuluma teyakirabamu buzibu, ye kwe kugenda okwebaka ebyaddirira teyabitegeera, okutuusa mutabani we omuluku Marvin Mugerwa bwe yamuzuukusa ng’amutegeeza nti, ennyumba ekutte omuliro. Agamba nti:
Okugenda okwebaka saasibawo, simanyi oba mukazi ye yaleka atusibidde munda oba baana be baasibawo kuba twanoonya ekisumuluzo okuggulawo ne kitubula. Ng’enda okuzuukuka ng’omuliro gukutte mu ddiiro, nga n’ennyumba yonna ekutte erikka, twagezaako okuzikiza n’amazzi ge twalina mu nnyumba ne bigaana ne tukuba enduulu abantu okutudduukirira.
Natandika okuziyira nga n’amaaso tegakyalaba bulungi, ne tusalawo tudde mu kisenge awaali tewannakwata muliro, mu kiseera ekyo nze nnali mpunze, saategeera na baana bange balala wa gye baali nabitegeera nkeera nti, baafudde.
Abantu bajja ne batutaasa ne tuddusibwa mu ddwaaliro, naye ng’abaana abasatu bbo baafudde. Baafa kiziyiro era tekwabaddeko wadde omu aliko ekiwunduky’omuliro.
“Mpulira obulumi bungi ku mutima olw’okufa kw’abaana bange, mukama angezesezza nnyo, kati nsigazzaawo omu bw’ati”, Mugerwa bw’alaajana.
MUKYALA WANGE OKUZAALA EBBALI MBADDE NKIMANYI, NAYE MWAGALA
Omwana omuto mbadde nkimanyi nti, si wange, omukyala yakihhamba nga yaakamuzaala omwezi nga gumu, kyannuma ng’omusajja naye ate bwe nnatunuulira abalala abasatu be tulina ne nsalawo okumusonyiwa tubeere ffenna akuze abaana wamu era mukazi wange mmwagala nnyo n’omwana nnali namukkiriza nga mmulabirira ng’owange.
Ensonga eno nnina n’abamu ku booluganda lwange be nagitegeezaako, kale nze kyagenze okujja nga si kipya gyendi, nnasalawo okukimusonyiwa kuba teri atasobya ku nsi eno.
Omukyala kati ali mu ddwaaliro erimu e Kyengera gy’ajjanjabirwa olw’ekyekango ekikyagaanye
okumuva ku mutima olw’okufiirwa abaana baffe basatu lumu, n’okugenda okuziika e Bukuya yavudde mu ddwaaliro era kati gy’akyali mu kujjanjabibwa.
Bw’anaaba ateredde nga
teyeekyusizza, n’asalawo tubeere wamu tukuze ono omwana omu Mukama gwe yatulekeddewo, simulinaako buzibu nja kubeera naye kubanga mmwagala. 

Mukamwana ajooze mutabani wange 

Elizabeth Lukwago Nnaalongo, maama wa Mugerwa: Mukamwana ajooze omwana wange n’ayitawo, mpulira oluusi asula ebweru olwo ye ne baleka mu nju nga yeebase era ne kw’olwo alabika yali agenze kusulayo, abaddenga yeewaana ne bwe mbaawo, nti, ye mukazi mulungi abamwegomba bangi, nnina ebibuuzo bingi ku mutima, naye ka mbirekere Katonda.
Jackson Lukwago Ssaalongo, taata wa Mugerwa : Naffe mu ggwanika twaggyayo baana baffe babiri nga mukamwana bwe yalagira ne tugenda okuziika e Bukuya, naye ng’obuswavu bungi, buli omu atusongamu ennwe, olwa mukamwana okugaba omwana mu kufa.
Bwe twavudde okuziika awaka yabaddewo katono n’agenda ppaka kati tetumanyi waali, kirabika yagenze kuziika ate oli gwe yazaala ebbali. Naye nga saagala kumusalira musango kaseera kano kuba ky’ayitamu kinene, okufiirwa abaana abasatu olumu, mugugu munene okwetikka 

Enju twaleka si nsibe abaana be baasibako ekkufulu  

Joan Nambasa, owooluganda lw’omukyala, agamba nti: Nange mbeera wano ewa mulamu wange Mugerwa kuba mukyala we Mbabazi waaluganda lwange. Kw’olwo ku Ssande nze ne baaba Mbabazi twagenda ffenna ebweru ne tuleka Mugerwa n’abaana awaka.
Twali tugenze kugulira mwana Darius Lukwago 6 kati omugenzi eddagala kuba yali mulwadde, naye twaleka tetusibyewo, abaana kirabika be baasibawo n’ekkufulu.
Twasooka ku Pharmacy emu e Nateete eddagala ne litubula kwe kweyongerayo okulinoonya obudde ne buyita, twasalawo tuliveeko tukomewo awaka, tuba tukomawo ne batugamba nti, abaana baggyiiridde mu nnyumba.
Wabula omwana eyawonye Marvin yatutegeeza nti, muto waabwe, Moses Muwanguzi 3, naye omugenzi kati, nti bwe baagenda okwebaka baamuleka mu ddiiro ng’alaba TV ng’amasannyalaze gakomyewo kyokka ate omusubbaawa tebaaguzikiza, n’asigala ng’aguzannyisa.
Yakumanga ebipapula, ndowooza kwe kwokya ffiriigi, bwe yalaba ng’omuliro gutabuse n’adduka mu kisenge n’ayita mukulu we Marvine batandika okunoonya ekisumuluzo baggulewo nga tebamanyi we kiri naye nga kyali kiteereddwa mu kabada.
Daniel Kigongo Luwaga, mukulu wa Mugerwa agamba nti, ye yategeererawo ng’abamu ku baana ba muto we b’ebweru olw’enne-
eyisa ya mukyala we kuba abadde atambula ng’awaka adda matumbibudde n’oluusi asulayo. Nagezaako enfunda eziwera okwogera ne muto wange ku nneeyisay’omukazi, naye nga tampuliriza, ng’agamba kimu nti, “Omukazi saamusiima” ne mbivaako. Naye katusabe Mukama kino bakiyitemu kuba kinene