Mpuuga agamba nti ssemateeka w’eggwanga alinyirirwa

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga ategeezezza nga ssemateeka w’eggwanga owa 1995 bw’alinyirirwa entakera nga n’ennoongoosereza ezikoleddwa emyaka egiyise gigudde kyekuubira.

Mpuuga ng'alamusa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Mpuuga #ssemateeka #alinyirirwa

Bya  Edith Namayanja 

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga ategeezezza nga ssemateeka w’eggwanga owa 1995 bw’alinyirirwa entakera nga n’ennoongoosereza ezikoleddwa emyaka egiyise gigudde kyekuubira.

Mu kuggulawo ttabamiruka w’oludda oluvuganya gavumenti eyeetabiddwaamu n’abakulembeze okuli; Mugisha Muntu (ANT), Anna Adeke (FDC),  Asuman Basalirwa (JEEMA), Sadam Gayira, Micheal Lulume (DP), Jimmy Akena (UPC) n’abalala, Mpuuga agambye nti ssemateeka w’eggwanga ataaguddwataaguddwa nnyo olw’obannakigwanyizi abaagala okwekuumira mu buyinza.

Agambye nga bali mu kaweefube w’okulaba ng’ obukulembezze bukyuka nga n’okusalawo kubeera kwa Bannayuganda bonna. Abasabye okubeera obumu bawangane amagezi ng’ abavuganya gavumenti.

Mpuuga era ategeezezza nga Bannayuganda bwe bayayaanira eggwanga eritaliimu bantu bali waggulu w’amateeka era nategeezza nti amateeka g’ebyokulonda galimu kyekuubira ng’ ayagala akakiiko k’ebyokulonda ketengerere.