Mmotoka etomedde maama ne muwala we nga basala ekkubo ne bafiirawo!

ABANTU babiri be bafiiridde mu kabenje akagudde e Bwaise mu kiro ekikeeseezza leero maama n’omwana we bwe bafudde nga basala ekubo okudda mu maka gaabwe.

Mmotoka etomedde maama ne muwala we nga basala ekkubo ne bafiirawo!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kabenje #Bwaise #Kitalo #Nnyina

ABANTU babiri be bafiiridde mu kabenje akagudde e Bwaise mu kiro ekikeeseezza leero maama n’omwana we bwe bafudde nga basala ekubo okudda mu maka gaabwe.

Abafudde kuliko Florance Nagawa 68, ne muwala we Sarah Sebbuuza 35 nga bano batuuze ku kyalo Kaayi e Kawanda mu diviizoni y'e Nabweru mu munispaali y'e Nansana.

Bano babadde basala kkubo e Bwaise emmotoka ekika kya kamunye n'ebatomera kyokka abadduukirize bagenze okutuuka nga baafudde dda!.

Emmotoka etomedde abantu bano ebadde kika kya kamunye wabula abadduukirize tebasobodde kukwata nnamba ppuleeti kuba babadde bagezaako okutaasa obulamu bw’abantu.

Poliisi okuva e Kawempe ezze n'eggyawo emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika ly'e ddwaliro e Mulago abasawo bagende m maaso n’okugyekebejja.